Omuyimbi Spice Daina ayongedde okulaga nti ddala mukyala alina talenti wadde era kizibu nnyo omuyimbi yenna okumuvuganya.
Omwezi oguwedde ogwa May, 2021, Spice Daina yavaayo n’asaba abawagizi b’omuyimbi Sheebah Kalungi okukomya okumuvuma kuba tekiyinza kuyamba kutumbula kisaawe kya kuyimba.

Wabula abamu ku bawagizi ba Sheebah bagamba nti Spice agezaako okweyambisa muyimbi waabwe okutunda ennyimba ze kuba Sheebah wamaanyi nnyo mu Uganda.
Spice asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti ye alina talenti ez’enjawulo omuli n’okuzannya katemba era Sheebah tayinza kumwesembereza.
Spice kubye ddansi ku luyimba lwe ‘bereddene’ wakati mu kuzannya katemba, ekyongedde okuwa abawagizi be ssanyu nti ddala mu Uganda y’omu ku bakyala abalina talenti.
Vidiyo
https://www.instagram.com/p/CQMSIikjHII/
Vidiyo ya Spice ewadde abantu enseko omuli
Nince Henry – Ahahahaa, lero luno booty booty
Manking_ug – Sis banange oli versatile nkutya ebitone olina binji gwe Grammy jewetaga kati kuba ensi ojikakasiza atenga ojajikakasa
Mwanjeagnes – Booty nga teyenyenya
Keshabofficiall – Ebbina nga lifumita
Nakkebabetty – my namukwaya onanzitamu omuntu
Josephine5602 – Naye Banange Namukwaya

Ate munnakatemba Alex Muhangi alangiridde entekateeka z’okukuba mukyala we Prim Asiimwe embaga.
Muhangi ne Prim balina omwana omu ali mu gy’obukulu 6 era bambi ebintu bitambula bulungi wakati waabwe.
Prim, mukozi ku 100.2 Galaxy FM mu Evening Rush era y’omu ku bawala abalabika obulungi mu Kampala nga ne Muhangi wadde musajja munnakatemba, ye nannyini kutandikawo Comedy Store, okuyambako mu kutumbula talenti mu Uganda.
Enkya ya leero, Muhangi abadde ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Morning Saga era bw’abuuziddwa eky’okuwasa mukyala we Prim, awadde abantu enseko.

Muhangi agamba nti omuntu yenna singa agenda mu woteeri alina kulya oluvanyuma nasasula era naye kyaliko.
Muhangi mu ngeri y’emu agambye nti ye muntu w’abantu, ng’alina okuyita abantu bangi ku mbaga ye.
Agamba nti olwa Covid-19, tayinza kutekateeka mukolo kuba tebakkiriza bantu kungaana nga kiyinza okutambuza obulwadde.
Agamba nti alina essuubi okutwala embaga mu kisawe e Namboole nga buli muntu yenna ayingira, alina okusasula ssente.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/124551269719944