Maama alidde waaya oluvanyuma lw’okusanga muwala we ng’ali mu laavu ne Boy Friend we mu Kompawundi era bambi asigadde asobeddwa.
Mu kiseera kino olw’omuggalo ogwa Covid-19 mu nsi ez’enjawulo, abaana bali waka nga tebalina byakola era bangi benyigidde mu mize ez’enjawulo.
Ku mulembe guno, abaana balina amassimu, kiyambako okuwuliziganya mu bwangu ne baganzi baabwe n’okusingira ddala emisana ng’abazadde batambuddemu.
Kati no okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Instagram, maama akutte muwala we era aguddewo ekigwo.
Vidiyo eraga nti maama agenze okudda awaka nga muwala we emimwa agiwadde ‘Boy Friend’ mu Kompawundi ku kisenge era n’omulenzi alaze nti alina ‘work’ mu kunywegera omuntu.
Mu vidiyo, omulenzi alaga nti emikono gibadde gitambudde nga gituuse mu Nnabunya y’omuwala ate n’omuwala abadde akutte ku waaya y’omulenzi era abadde yetegese okumuwa ebyalo.
Maama abadde ayambadde ebimyufu, agenze okutuuka mu Kompawundi nga muwala we ali mu laavu era ekikonde kitandikiddewo.
Wadde Vidiyo eri mu kutambula, tutandise okunoonyereza okuzuula vidiyo yavudde mu nsi ki kyokka eraga nti yawano mu Africa.
Vidiyo