Ebya Sipapa sibirungi, abasajja bamukutte abitebye!

Mu nsi, omuntu yenna okwewala ekkomera kiyinza okuba ekizibu kuba ebintu bingi nnyo ebiyinza okuviirako omuntu yenna okusibwa omuli obubbi, obutemu, obutakaanya mu ddiiru, okuwayiriza ssaako n’engeri endala.

Wosomera bino ng’omugagga Charles Olim amanyikiddwa nga Sipapa ali mu kaduukulu ka Poliisi e Kira ne mikwano gye.

Sipapa yaguddwako omusango gw’obubbi nga guli ku fayiro CRB 037/2021.

Ku Poliisi, Sipapa yakwattiddwa ne ddereeva we Julius Seizere, Ashiraf Makumbi amanyikiddwa nga Butida eyayimba Bak’abasajja Banyuma ssaako ne Pavin Namujju mukyala wa Makumbi.

Kigambibwa Sipapa okukwatibwa, birimu ensonga za ddiiru n’abanene mu State House era mbu balemeddwa okukaanya ku ntambuza y’emirimu.

Muganda wa Sipapa agaanye okwatuukiriza amannya agambye nti balina essuubi nti olunnaku olwaleero, Sipapa bagenda kumutwala mu kkooti kyokka singa tekikolebwa, bagenda kweyongerayo eri abakulu.

Sipapa musajja wa National Resistance Movement (NRM) era muwagizi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021, yali musaale nnyo mu kunoonya akalulu ka Pulezidenti Museveni mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Wadde musajja mugagga, tewali ayinza kunyonyola engeri gy’afunamu ssente.

Waliwo abagamba nti ali mu ddiiru za kutunda zzaabu, abalala bagamba nti akozesebwa abagagga mu ddiiru ez’enjawulo kyokka byonna tewali alina bukakafu.

Poliisi ekutte abantu basatu (3) abakoze obulumbaganyi ku Resident District Commissioner (RDC) eyabadde ateekesa mu nkola ebiragiro, by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni eby’okulwanyisa Covid-19.

RDC Geoffrey Oceng ow’e Amuru, yalumbiddwa abantu basatu (3), ku ssaawa nga 4 ez’ekiro ku Ssande ne bakuba emmotoka amayinja, endabirwamu y’omu maaso ne bajaasa ne badduka ku kyalo Torokal mu ggombolola y’e Amuru.

Okuva ku Ssande, Poliisi ebadde anoonya abantu abo, wabula kyaddaki ekutte Bitek Okot myaka 20, Denise Onen, 19 ne Lawrence Onencan Owachi 18 nga baana ba ku kyalo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, David Ongom, abakwate batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi Amuru okuyambako mu kunoonyereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2883090815292309