Mu nsi y’omukwano, ekintu bwenzi sikirungi ate n’okwesiga omuntu era sikyangu kuba buli muntu yenna atya okumumenya omutima ku bya laavu era omuwala n’omulenzi balina okukaanya ku nsonga ezimu.
Okwesiga ennyo omuntu n’okwagala ennyo mu bintu bya laavu kirungi nnyo kyokka nakyo kirina ebizibu era singa ofuna omuntu omutuufu, oyinza okunyumirwa kyokka singa ofuna omuntu nga simutuufu, ebintu by’omukwano oyinza okubikyawa.
Lwaki mwanamuwala ali mu maziga!
Mwanamuwala ali mu maziga kuba tukitegeddeko nti ‘Boyfriend’ we amusuddewo era yafunye omuwala omulala mbu omulungi era ategeera ensonga z’omukwano.
Kigambibwa omuwala abadde ayagala nnyo omulenzi era abadde amuwa ebintu eby’enjawulo nga tayinza kulowooza nti ayinza okufuna omuwala omulala.
Abamu ku mikwano gy’omuwala bagamba nti wadde omulenzi abadde amwagala nnyo naye abadde mwenzi era amukutte n’abawala ab’enjawulo emirundi mingi.
Kigambibwa omuwala yakubidde omulenzi essimu okumukyalirako era yabadde amwetegekedde okusinda omukwano wabula olwatuuse, omulenzi yamusabye okwawukana kuba yabadde abikooye.
Wabula omuwala yabadde takikkiriza era yakubye omulanga nga bw’asaba omulenzi okumusonyiwa bw’aba yamusobezza.
Omuwala yasabye omulenzi ‘bambi baby one more time please’ ng’omulenzi tayagala kumanya.
Vidiyo