Kyaddaki munnamawulire agambibwa okuba muganzi w’omuyimbi Lydia Jazmine wuuno ayongedde okwogeza abantu obwama.
Jazmine wadde mukyala muyimbi, bba tamanyikiddwa wabula abamu ku mikwano gye bagamba nti abaddeko mu laavu n’abasajja ab’enjawulo.
Okuva omwaka 2018, amawulire gaali gatambula nti Jazmine ali mu laavu n’omuyimbi Eddy Kenzo era mbu y’emu ku nsonga lwaki Kenzo yafuna obutakaanya n’eyali mukyala we Rema Namakula.
Rema wadde yali yakazalira Kenzo omwana omu yekka, yasalawo okwawukana naye era amangu ddala, yanoonya omusajja omulala.
Rema yafuna Dr. Hamzah Ssebunya era yamwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwa Masaka.
Okuva Rema lwe yafuna omusajja omulala, Kenzo ebintu tebitambula bulungi mu nsonga z’omu kisenge kuba talina mukyala amanyikiddwa.
Mu Uganda Kenzo y’emu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba era akutte akati mu kweyambisa Talenti okutunda Uganda mu nsi z’ebweru.
Embeera ya Kenzo y’emu ne Jazmine nti wadde muwala akuliridde, talina musajja amanyikiddwa.
Jazmine agamba nti yazaalibwa mu 1991 era mu kiseera kino alina emyaka 30.
Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo ekifaananyi mu biseera bye eby’eddembe ng’ali ku kiddiba ekiwugirwamu (Swimming Pool) kyokka bangi basigadde basobeddwa mu ndabika.
Wabula oluvanyuma lw’okuteeka ekifaananyi ku Instagram, omu ku bawagizi be ‘ugandanallstar’ agamba nti Jazmine ali mu laavu ne Kayz owa NBS TV.
Ugandanallstar agamba nti, “Ekye bbeyi kya Kayz walayiiiiii. Naye nga ebyo bikyaali awo omanyi okuwuga???“.
Abagoberezi ba Jazmine abalala, bamwogeddeko ebigambo eby’enjawulo
Zex_bilangilangi – Kino kyebayita processs by ……..
Carol_nantongo – Eyakula obubi anakilabaaa
Ronie_on_dis_one – Otutwala Pulosesi by Pulosesi yadde tuli nayivu
Denalbash – Ka jasmine Nkalyaaa.
Ku myaka 30, alina ennyimba ez’enjawulo ezimufudde omukyala ow’enjawulo mu kisaawe ky’okuyimba ate omukyala omukozi ennyo.
Ezimu ku nnyimba mwe muli Olindaki, Masuuka, Wankolera, Hit and Run, Jimpe, Ebintu Byange, Omalawo, Nkubanja n’endala.
Akoze kolabo n’abayimbi ab’enjawulo omuli Prince Omar, Grenade, Rabadaba n’endala.
Wadde ali ku myaka 30, bannayuganda bakyalindiridde okutegeera omusajja we omutuufu kuba y’omu ku bawala abali ku mudaala mu kiseera kino.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=j0FvK2f6GvU