Kyaddaki Gavumenti efulumizza ‘List’, y’abantu abali mu mbeera mbi, abetaaga okuyambibwa mu kiseera kino eky’omuggalo wakati mu kulwanyisa Covid-19 era abagenda okufuna ku ssente

Kabinenti, yakkirizza okusindikira abantu ssente 100,000, abetaaga okuyambibwa ku massimu gaabwe, nga batunuulidde amaka 501,107 mu Kampala n’ebitundu ebiriranyewo, ebibuga byonna ssaako ne Monicipaali ez’enjawulo.

Obuyambi bwa Gavumenti

Okusinzira ku ‘List’ y’abantu abagenda okuyambibwa, mwe muli abayimbi, bannakatemba, Polodyusa, aba bodaboda, baddereeva ba Sipensulo, abakola mu saluuni, abasomesa masomero g’obwannanyini ssaako n’abo abasomesa mu Gavumenti abatali ku musaala.

Abalala abagenda okufuna ku nsimbi mwe muli baddereeva ba Takisi, bbaasi, Bakondakita, ab’ebigaali, Ba gayidi ku siteegi mu Ppaaka ez’enjawulo, abatikka emiguggu, mu kikuubo, ba DJ, abakozi mu bbaala omuli ba weyita, Bawunsa, abakola mu ggiimu, Resitolanti, Bakanaabe abalongoosa emmotoka, abatunga ngatto, abatuunzi b’emmere ssaako n’abantu abalala.

Ebimu ku bitundu ebigenda okufuna ku ssente

Ebitundu ebigenda okufuna ku nsimbi mwe muli Ntebbe, Iganga, Jinja, Kampala, Kamuli, Kasese, Kisoro, Lugazi, Masaka Mityana, Njeru, Mukono ssaako n’ebintu ebirala.

Wabula Minisita w’ekikula ky’abantu, emirimu n’okulakulanya ebitundu Betty Among, agamba nti ensimbi tezigenda kuyamba bantu bonna abali mu mbeera mbi wabula abantu bokka abakoseddwa olw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okulangirira omuggalo ogw’ennaku 42 ng’emu ku ngeri y’okulwanyisa Covid-19.

Minisita Among ku ssente

Minisita Among agamba nti ssente 100,000, abageenda okuzifuna, bagenda kuzeyambisa okufuna akawunga kkiro 20 ku shs 2,000 buli kkiro, ebijanjalo kkiro 10 nga buli kkiro ya 2,500,  ssabuuni omuti gumu ku shs 3,000, buto lita 3 ku shs 4000 buli Lita, ate buli omu asigazeeko ssente 20,000 okwetusaako byeyetaaga.

Ate Ssaabaminisita Robinah Nabbanja agamba nti bannayuganda balina amagezi okwebezaawo ate abamu balina emmere era y’emu ku nsonga lwaki ku mulundi guno, bagenda kuyambako abantu batono.

Nabbanja agamba nti kino kye kiseera buli omu okuyamba munne okufuna emmere kuba tuli mu mbeera ey’okuyambagana.

Ebirala ebifa mu ggwanga lyaffe Uganda – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/819753712295655