Kyaddaki omuyimbi Winnie Nwagi ayongedde okwogeza abasajja obwama nga basinzira ku bifaananyi byatadde ku mukutu gwa Instagram.
Nwagi y’omu ku bakyala abayimbi abaliko mu kiseera kino era abakoze ebintu eby’enjawulo okuvuganya ennyo mu kisaawe ky’okuyimba.

Ng’omuyimbi, awangudde ‘Awards’ ez’enjawulo n’okusingira ddala ‘Awards’ ezisinga amaanyi mu ggwanga eza Zzina Awards.
Abyogedde!
Asobodde okuteeka ebifaananyi ku Instagram ebisukka mu 10 era bangi ku bawagizi be bakkirizza nti ddala alina ‘Work’

Ku Instagram, agambye nti buli muntu ateekeddwa okweyagala ng’omuntu, “U must want to spend the rest of your life with yourself first, #selflove“.
Mu Uganda, tewali kubusabuusa, y’omu ku bayimbi era abakyala abategeera okulya obulamu, tewali kwekuba njawulo.

Abawagizi be basiimye ebigambo bye!
Oluvanyuma lwa Nwagi okuteeka ebifaananyi ku Instagram ssaaako n’ebigambo bye, abamu ku bawagizi be abamugoberera bamwogeddeko mu ngeri ez’enjawulo.

Leila Kayondo agambye nti Sabula tugende
Zahara totto – baby
Kenton_babayaga – Nwagi nwagi, nkuyise emirundi emeka
Geofreykukyeza – Nwagi oli naive wetaaga kutwala pulosesi by pulosesi n’abalala.

Lwaki y’omu ku basiinga Talenti!
Nwagi alina ennyimba ez’enjawulo n’okusingira ddala ez’omukwano era ziyambye nnyo abakyala n’abasajja okuwaana n’okususuuta baganzi baabwe.
Ezimu ku nnyimba ezifudde omuyimbi ow’enjawulo mwe muli Yitayo, Amaaso Jangu, Everything, Musawo, Kibulamu, Mataala ssaako n’ennyimba endala.

Lwaki ayogezza abantu obwama!
Ng’omukyala omulala yenna, akola bimunyumira era emirundi mingi avuddeyo ng’agamba nti tewali muntu yenna ayinza kumulemesa kukola bintu bimuwa ssanyu.
Okuteeka ebifaananyi ng’alaga omubiri gwe, ye kimuwa essanyu ssaako n’abamu ku bawagizi be, era kimuyambye nnyo okweyongera okufuna abawagizi n’okusingira ddala abasajja.

Alina omusajja!
Wadde mukyala alabika bulungi era maama kuba alina omwana, tewali musajja amanyikiddwa nti muganzi we.
Mu 2020, waliwo ebigambo ebyali bitambula nti ali mu laavu ne muyimbi munne Chozen Blood wadde bonna bagamba nti bamikwano.

Mu kiseera kino, tewali musajja amanyikiddwa nti ali mu mukwano ne Nwagi newankubadde bangi ku basajja bamwepikira.
Ebirala ebifa mu ggwanga Uganda – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/186991580159640