Poliisi eri mu kunoonya omukyala ku misango gy’okwagala okutta omwana wa bba mu disitulikiti y’e Iganga.
Omwana Samuel Mukombe myaka 6 yasangiddwa ng’ali mu mbeera mbi nga yenna azimbye omubiri ng’ali waka, ku kyalo Bukyaye mu ggoombolola y’e Nakalama.
Mu ddwaaliro, omwana asobodde okutegeeza abasawo nga yakubiddwa empiso eteekeddwamu amafuta mu nkwawa ssaako ne mugongo.
Wabula abamu ku batuuze, nga bakulembeddwamu Fazila Nambatya bagamba nti omukyala abadde asukkiridde okutyoboola eddembe ly’omwana nga n’abakulembeze bategezebwako dda, okuyingira mu nsonga, okusobola okutaasa omwana.
Wabula ssemaka bba w’omukyala, Isaac Bogere asabye Poliisi okunoonya mukyala we, eyabadde amaliridde okutta omwana we.
Bogere agamba nti wadde omukyala omwana siyamuzaala, tewali nsonga yonna lwaki abadde ayagala kumutta.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, agamba nti wadde omukyala aliira ku nsiko aguddwako emisango gy’okutyoboola eddembe ly’omwana.
Omuyimbi Ashraf Makumbi amanyikiddwa nga Record Ella Butida eyayimba B’ak’abasajja banyuma kyaddaki ayimbuddwa okuva mu kkomera.
Butida ne banne okuli muwala we Pavin Namujju ne Julius Seizere baayimbuddwa ku Lwokuna lwa sabiiti ewedde okuva mu kaduukulu ka poliisi e Kira.
Yattibwa n’omugagga Charles Olim amanyiddwa nga Sipapa ku misango gy’okubba amassimu 3 ne Kompyuta okuva mu maka g’omu ku batuuze e Najjera.
Okuvaayo, munnamateeka wa Sipapa, Charles Owori, yasobodde okuyingira mu nsonga era yagambye nti okusiba abantu nga tebatwaliddwa mu kkooti, kimenya mateeka nga kityoboola eddembe ly’obuntu.
Wadde baayimbuddwa, baalagiddwa okugenda ku Crime Intelligence e Bukoto enkya ku Lwokuna nga 1, July, 2021 ku ssaawa 3 ez’oku makya okweyanjula ku Poliisi.
Mu kiseera kino Sipapa akyakuumibwa ku kitebe kya Special Investigations Unit (SIU) e Kireka nga Poliisi bw’enoonyereza.