Waliwo omukazi asimatuse okuttibwa ababbi newankubadde asigadde mu kutya nga n’ebintu bye bitwaliddwa.
Omukazi abadde ku ggeeti ng’alinze okumuggulira okuyingira, ababbi ne batuuka.
Omu ku babbi alumbye omukazi ku ggeeti kyokka ekirungi asobodde okwetaasa n’okutaasa obulamu obutattibwa.
Wabula newankubadde asobodde okutaasa obulamu, mu vidiyo, eraga nti omubbi aliko ebintu byatutte era bambi omukazi asigadde asobeddwa ng’ali mu kutya.
Mu vidiyo, ababbi n’omukazi alumbiddwa kiraga nti ali mu Africa wabula ensi oba eggwanga ekikolwa kino gye kikoleddwa, terimanyiddwa mu kiseera kino.
Lwaki ababbi beyongedde!
Abakugu mu byokwerinda bagamba nti obubbi bugenda kweyongera mu nsi yonna wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Bagamba mu nsi ez’enjawulo, Covid-19 akosezza nnyo emirimu gy’abantu, abamu emirimu giweddewo ate nga balina obuvunaanyizibwa.
Abakugu bagamba nti olw’abantu okuba nga tebalina mirimu, okubba kulina okweyongera, okunoonya engeri y’okwebezaawo.
Mungeri y’emu bagamba nti Gavumenti zirina okwongera okunyweza ebyokwerinda kuba obubbi bulina okweyongera.
Mu nsi yonna, abantu abakazuulwa nga balina Covid-19 bali 187,279,338 ate abaakafa 4,043,020 ate abafunye obujanjabi bali 171,254,363.
Wano mu Africa, ensi zikoseddwa nnyo nga Uganda, yakazuula abalwadde 86,755 ate abaakafa 2,090, mu Kenya abalwadde 188,513, abaakafa 3,721, South Africa yakazuula abalwadde 2,179,297 ate abaakafa 64,138.
Ki ekirina okukolebwa!
Abakugu mu byenfuna, bagamba nti mu kiseera kino ensi zonna n’okusingira ddala mu Africa, zirina okukola nnyo okulwanyisa ebbula ly’emirimu.
Bagamba nti abantu gye bakoma obutaba na mirimu, obubbi bugenda kweyongera.
Africa erina obuzibu bw’ebbula ly’emirimu n’okusingira ddala abavubuka n’okusingira ddala mu nsi nga Uganda era y’emu ku nsonga lwaki abavubuka abato beyongedde okwenyigira mu bikolobero.
Lwaki Pikipiki!
Wano mu Uganda, abantu basukkiridde okweyambisa Pikipiki mu byentambula nga bagenda okutemula abantu.
Obulumbaganyi obusembyeyo bwakolebwa ku Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala nga 1, June, 2021. Mu bulumbaganyi, muwala wa Gen. Katumba, Brenda Nantongo ne ddereeva we Haruna Kayondo.
Oluvanyuma lwa Gen. Katumba okulumbibwa, Poliisi yakakwata abantu musanvu (7) era mu kiseera kino bali ku limanda mu kkomera e Kitalya.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3010012742616919
Vidiyo