Poliisi ekutte taata myaka 43 ku misango gy’okusobya ku mwana we gweyezaalira myaka 9.
Taata akwattiddwa mutuuze mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria era abadde tasuubira nti ayinza okukwattibwa.
Mu vidiyo, omwana ku myaka mwenda (9) agamba nti kitaawe abadde amusobyako emirundi egiwera era mu kiseera kino alumwa mu lubuto ssaako n’ebitundu by’ekyama.
Omwana agamba nti kitaawe abadde amulagira kumpi buli lunnaku okugyamu engoye okumusobyako era abadde yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.
Wabula omwana bwe yabadde ku ssomero, yasobodde okutegeeza omu ku basomesa era amangu ddala Poliisi yayitiddwa okuyingira mu nsonga nga n’omwana tali mu mbeera nnungi mu bitundu by’ekyama.
Okusinzira ku sitetimenti okuva ku Poliisi mu kibuga Lagos erwanyisa obutabanguko mu maka n’ebikolwa by’okusobya ku baana (Domestic and Sexual Violence Response Team DSVRT), taata akwattiddwa okuyambako ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza ate omwana atwaliddwa mu kifo ekibudabuda abaana okuyambibwa.
Abamu ku batuuze mu kibuga Lagos, bagamba nti okusobya ku baana kweyongedde n’okusingira ddala mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 ng’abantu bali ku muggalo.
Wabula abatuuze bavudde mu mbeera nga baagala okutwalira amateeka mu ngalo n’okutta omusajja wabula Poliisi esobodde okukola kyonna ekisoboka okutaasa omusajja.
Abatuuze bagamba nti bakooye abasajja abasiwuufu b’empisa era taata abadde agwanidde kuttibwa.
Lwaki omwana ayogedde!
Omwana agamba nti kitaawe okumusuubiza okumutta, y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okutya okuvaayo okutegeeza eggwanga lyonna.
Agamba okulumwa ennyo mu bitundu by’ekyama n’okutya okudda awaka olwa kitaawe okuddamu okumusobyako, y’emu ku nsonga lwaki yavuddeyo okwongera ng’akooye embeera y’amaziga.
Mungeri y’emu agamba nti yatandiika okumusobyako n’okutandiikwa y’omwaka guno era abadde yagula ejjambiya okumutematema singa agezaako okutegeeza omuntu yenna.
Poliisi eyogedde!
Poliisi egamba nti abantu okweyongera okunywa ebiragalaragala n’ebitamiiza omuli enjaga, y’emu ku nsonga lwaki abasajja beyongedde okusobya ku baana abato.
Poliisi egamba nti tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira liiso ku misango gy’okusobya ku baana abato era taata essaawa yonna bagenda kumutwala mu kkooti abitebye.
Vidiyo
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3010012742616919