Kyaddaki, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board (UNEB) kifulumizza ebigezo bya P7 ebya 2020 mu ngeri ya ‘Science’ ku mukolo ogubadde ku ‘State House’ Ntebe.
Ebigezo bya bayizi 2,220 bikwatiddwa nga kigambibwa, bayambibwako nga bakola ebigezo era UNEB esuubiza okunoonyereza.
Ebisinga obungi ku bikwattiddwa bya bayizi mu bitundu bye Rwenzori n’okusingira ddala mu disitulikiti y’e Bundibugyo ne Kasese.
Mungeri y’emu, abayizi 81,864 bafunye ‘First Grade’, 334, 711 bafunye ‘Second Grade’, abayizi 146, 142 bafunye ‘Third Grade’, 97,193 bafunye ‘Forth Grade’ ate 74,878 bagudde n’enkona n’enywa.

Ku mulundi guno, abayizi abawala bakoze bulungi mu Lungereza ate abalenzi, balebeseza abawala mu Science, SST ssaako n’okubala.
Abayizi bonna beyongedde okukola obulungi Olungereza ate ne beyongera okusereba mu kubala ate mu Science ne SST tewali nkyukakyuka. Okusinzira ku ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odongo, ku bayizi 734,788 abatuula ebigezo, 659,910 basobodde okuyita.

Odongo era agamba nti abayizi mu bibuga bakoze bulungi nnyo okusinga banaabwe ab’omu kyalo.
Ate Minisita w’ebyenjigiriza ebisokerwako Dr. Joyce Moriku Kaduccu, awanjagidde abazadde ssaako n’amassomero, okwewala ebikujjuzo nga biyinza okutambuza Covid-19.
Ate Minisita w’ebyenjigiriza era kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino Janet Kataaha Museveni, asabye abazadde n’abasomesa okunoonyereza ekivaako abayizi okwewandiisa kyokka ne balemwa okudda okutuula ebigezo.
Mungeri y’emu ajjukiza abazadde okutekayo omwoyo ku baana baabwe mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 okwewala ebiyinza okubaggya ku mulamwa n’okubalemesa okudda ku massomero.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/847275052880280