Abantu babiri (2) kikakasiddwa nti bafiiridde mu muliro ogusanyizaawo agamu ku mayumba mu zzooni y’e Kyamuka e Kamwokya.
Omuliro gutandiise ku ssaawa 1 eyakawungeezi (7:00pm) era kigambibwa guvudde ku masanyalaze.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Asp Luke Owoyesigyire, abafudde kuliko omukyala n’omusajja ate waliwo bangi abakoseddwa.

Omuliro e Kamwokya

Owoyesigyire agamba nti okunoonyereza ebikwata ku bafudde kutandiise era emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Mungeri y’emu agambye nti ebintu bingi bifuuse vvu.

Mu kiseera kino abantu bali mu maziga nga bangi tebasigazza kintu kyonna mu nnyumba, abamu bazirise abaana baabwe era abali mu mbeera mbi batwaliddwa mu malwaliro ag’enjawulo.

Poliisi ezikiza omuliro yegatiddwako abajaasi ba UPDF n’aba LDU okutaasa embeera wabula babadde bakyalemeddwa okufuna ekkubo, awayinza okuyita emmotoka.

Bya Nalule Aminah