Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ali mu kutya olw’abantu, abatandise okumutisatiisa, ekiyinza okumulemesa okutambuza emirimu gye.
Nabbanja agamba nti waliwo omukyala eyavudde mu Kampala nalumba muganda we era Tawuni kilaaka mu Tawuni Kanso y’e Kakumiro, namusaba okutegeeza Nabbanja okusala omuliro n’okuva mu kkubo lyabwe.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okwetaba mu kulonda omukulembeze waabwe ng’abakiise ba Palamenti abasibuka mu bitundu bye Bunyoro, Ssaabaminisita Nabbanja wadde mukyala atanyigirwa mu ttooke, alaze nti atidde era asuubiza okuloopa eri mukama we ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyambibwa.

Nabbanja agamba nti eky’okulumba muganda we mu kyalo ku nsonga ezimukwatako, tayinza kusirika busirisi kuba kikwata ku bulamu.
Ku ntandikwa ya sabiiti eno, Nabbanja yakoze erinnya era yawadde abatuuze b’e Kasese akamwenyumwenyu ssaako n’eggwanga lyonna, bwe yagobye Obutimba bw’ensiri, Bulanketi ssaako n’ebijanjalo, ebyatwaliddwa e Kasese, okuyamba abantu abaakoseddwa olw’omugga Nyamwamba okubooga.
Nabbanja yagambye nti ebintu ebyo, omutindo gwabadde wansi nnyo, kwe kulemesa okubigabira abantu.
Ku nsonga eyo, Nabbanja agamba nti yasobodde okweyambisa obuyinza bwe nga Ssaabaminisita okusaba alipoota ku bantu, abaakulembeddemu okusindika e Kasese ebijanjalo ebifu, obutimba ssaako ne Bulanketi ebiri ku mutindo obubi.
Agamba, ensonga aziyingizaamu ekitongole ekya Poliisi, Kalisoliiso wa Gavumenti ssaako n’akakiiko akali ku ddimu ly’okulwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu State House, okunoonyereza okuzuula ekituufu.
Ate Bannabyabufuzi balabudde omukulembeze w’eggwanga Gen. Yoweri Museveni obutagezaako kuza ggwanga ku muggalo kyebagamba nti kigenda kuyambako okukendeeza ebizibu ebiyinza okubalukawo olw’omuggalo ogutakoma.
Joseph Kabureeta eyavuganyako ku ntebe y’omukulembeze bw’eggwanga mu kalulu akawedde agamba gavumenti yandibadde ekozesa omuggalo okugema abantu, eggwanga live ku muggalo kubanga ebisubiizo byona ku kulwanyisa ekirwadde kino gavumenti byeyasuubiza byooya byanswa.
Kabureeta nga musajja Pasita, agamba nti Gavumenti ya Mukulu Museveni eremeddwa okulaga entekateeka y’okulwanyisa Covid-19 mu kiseera kino ng’abantu bali ku muggalo era waliwo okutya nti singa Covid-19 addamu okweyongera, Bannayuganda balina okuddayo ku muggalo.
Asabye Gavumenti okuteeka amaanyi mu kugema abantu kuba kigenda kuyambako, okuddamu okutambuza emirimu gyabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901