Odion Jude Ighalo, omuzannyi w’omupiira gw’ebigere alaze eswagga mu kulya ssente ng’ali n’abaana be.
Ighalo munnansi we Nigeria era agamba nti yazaalibwa nga 16, June, 1989 nga mu kiseera kino alina emyaka 32.
Omupiira gw’ensimbi agusambira mu kirabu ya Al-Shabab FC mu ggwanga erya Saudi Arabia, eyatandikibwawo mu 1947.

Ighalo n’omwana we

Ighalo musajja mufumbo ng’alina omukyala Sonia Ighalo okuva 2009 era musajja alina abaana.
Yazaalibwa omusajja Paul Ighalo n’omukyala Martina Ighalo.

Nga bali ku mazzi

Ng’omuzadde omulala yenna, Ighalo yasobodde okutwala famire ye okulya ku bulamu era abaana n’omukyala bafunye ku ssanyu ly’oku mazzi.

Vidiyo