Poliisi y’e Busia ekutte ssentebe w’ekyalo n’abatuuze bana (4) ku misango gy’okutta omusajja eyasangiddwa mu kaboozi.
Ssentebe w’ekyalo Awokoto, Paul Aujala yakwatiddwa ne banne okuli Everlyne Taaka, Vincent Owade, Tom Obara ne John Opili.
Abakwate kigambibwa batulugunyizza Jackim Barasa myaka 53 abadde omutuuze we Asopotoit mu ggoombolola y’e Sikuda mu Lwokubiri ekiro mu nnyumba ya Vincent Owade kyokka oluvanyuma lw’okufa, omulambo gwasuuliddwa ebbali w’ekkubo.
Muganda w’omugenzi John Okware agamba nti bafunye amawulire nti muganda we yattiddwa oluvanyuma lw’okusangibwa ng’ali mu kaboozi n’omukyala omufumbo.
Okusinzira ku Okware, baludde nga bafuna amawulire nti omugenzi abadde alina abakyala ab’enjawulo omuli ne mukyala wa Owade wadde tebalina bukakafu.
John Barasa, omu ku batuuze agamba nti omulambo guzuuliddwa enkya ya leero, kwekutemya ku Poliisi.
Agamba nti oluvanyuma lw’okunoonyereza okuzuula engeri omugenzi gye yattiddwa, kwekuzuula engatto z’omufu mu nnyumba ya Owade.
Donosio Waswa, ssentebe w’ekyalo Asopotoit agamba nti omugenzi abadde mutuuze ku kitundu kye, kwe kusaba Poliisi okunoonya abatemu n’okuzuula ensonga entuufu lwaki yattiddwa.
Tony Odonkara, akola ng’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Busia agamba nti abakwate bali ku misango gy’obutemu era bali ku kitebe kya Poliisi e Busia.
Odonkara agamba nti okunoonyereza okuzuula ekituufu kutandikiddewo.