Omuyimbi Winnie Nwagi ayongedde okulumya abasajja n’okusingira ddala abamwegomba.
Mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 nga n’ebivvulu byayimirizibwa, abayimbi balina obudde bungi okuwandiika ennyimba n’okuwumuza ku birowoozo.
Nwagi eyakuyimbira Musawo, Katono Katono, Fire Dancer n’endala y’omu ku bayimbi abasobodde okweyambisa ekiseera kino okulya ku ssente ze n’okuwumula ssaako n’okulabirira omubiri.

Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga vidiyo ng’ali kuwumulamu mu Hotero mu bitundu bye Ntinda.
Akutte vidiyo ng’ali mu kibaafu ky’omunju anaaba mu ngeri y’okulumya n’okusabbalaza abasajja naddala abamwegomba.
Wabula abamu ku bawagizibe bamwanukudde mu ngeri y’okulaga nti ayongedde okukola ebintu okubateeka mu mmuudu, “ranxmbogo – Nyabbo oyagala twekubisa basabuni nga lockdown egwako, Hamidu Semujju – Winnie may I come?” n’abalala.
Vidiyo