Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asobodde okusatulula ku muggalo wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Museveni ng’asinzira mu State House, awadde bannayuganda essanyu nga kivudde ku bantu abazuulwa nga balwadde okukendeera mu ggwanga lyonna.
Kafyu asigaddewo ku ssaawa emu (7pm) paka ku ssaawa kumi n’emu n’ekitundu ez’okumakya (5:30 am) ez’okumakya mu ggwanga lyonna era asabye ebitongole ebikuuma ddembe okwongera okukiteeka mu nkola. Agamba Kafyu ayamba nnyo okutangira abantu okutambula obudde bw’ekiro okungaana, ekiyinza okutambuza obulwadde.

Aba bodaboda kati baakukola paka ssaawa kumi na bbiri (6pm) era bakkiriziddwa okutambuza omuntu omu kyokka bonna balina okwambala masiki.
Kikuubo wakuggulawo wabula teri batundira ku mbalaza era balina kubeera basuubuza bokka. Awadde abasuubuzi mu Kikuubo amagezi okunoonya ebifo ebirala gye bayinza okutundira ebintu byabwe mu lejjalejja.

Malls, Akeedi n’ebifo ebirala bigaddwa wabula bayinza okuggulawo nga bagoberedde ebiragiro byonna eby’okulwanyisa Covid-19, nga balina okwerula emiryango namakubo, okuteeka kkamera mu bizimbe eza CCTV, okwongeramu amataala ssaako n’okutumbula obuyonjo.
Pulezidenti Museveni era agamba okuziika tebalina kusukka bantu 20, emikolo omuli embaga, okwanjula tebalina kusukka bantu 20 nga kikoleddwa okutangira abantu okutambuza obulwadde.

Amasinzizo gasigadde maggale mu ggwanga lyonna era Pulezidenti Museveni asabye abakulembeze b’enzikiriza ez’enjawulo okweyambisa emitimbagano omuli Face Book n’emikutu gy’empuliziganya omuli Ttiivi ne Laadiyo okuliisa abantu ekigambo kya Katonda.
Ebifo omuli Gym n’emizannyo omuli Pool Table bisigadde miggale, ebibaanda omuli ebya Betting, nabyo bisigadde biggale.
Pulezidenti Museveni awadde abayimbi ne bannakatemba amagezi okweyambisa emitimbagano okuyimba kuba mu kiseera kino ebivvulu bisigadde biggale. Asuubiza okuddamu okwekeneenya ensonga yaabwe oluvanyuma lw’ennaku 42.

Ebbaala alagidde okusigala nga nzigale. Alagidde ebitongole ebikuuma ddembe okwongera okuteeka amaanyi ku bantu abalina emputtu ne baggula ebbaala zaabwe.
Saluuni alagidde okusigala nga nzikola kyokka balina okwetangira Covid-19.
Eby’emizannyo, Pulezidenti alagidde biddemu kyokka abawagizi tebakkirizibwa mu bisaawe. Abazannyi balina okukeberwa Covid-19.
Emmotoka z’obwannanyini zikkiriziddwa okuddamu okukola kyokka buli mmotoka terina kusukka bantu 3 okuli ne ddereeva ate emmotoka z’olukale omuli Takisi zifunye omukisa okuddamu okukola kyokka zirina kutwala kitundu ekyokulabirako takisi erina kutwala bantu 7 bokka.

Pulezidenti Museveni mungeri y’emu alagidde amassomero ne Yunivasite okusigala nga nzigale. Agamba nti balina essuubi abaana okudda ku massomero oluvanyuma lw’okugema abayizi wakati w’emyaka 12 – 18. Asabye amasomero okweyambisa emitimbagano okusomesa abayizi. Asuubiza nti Minisitule y’ebyenjigiriza egenda kuyambako mu kuwagira okusomera ku mitimbagano.
Sawuna alagidde okusigala nga nzigale kuba zikola kinene mu kutambuza Covid-19.
Pulezidenti Museveni agamba nti okulwanyisa Covid-19, bannayuganda bonna balina okwenyigiramu nga bateeka mu nkola ebiragiro byonna eby’okutangira okutambuza obulwadde.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506