Ssaabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II alabudde abantu abatandise okwempankira ku ttaka lya Buganda nga bakwesa nti enkola eya Mayiro yeviiriddeko ekibba ttaka okweyongera ekiviiriddeko emivuyo ku ttaka okweyongera.
Ssaabasajja Kabaka asabye abantu abatandise okuwalampa obwakabaka obuteeyambisa mpisa ya Buganda ey’okwaniriza buli muntu awatali kumusosola ate okubufuula obunafu bwa Buganda.
Okwogera bino, Nnyinimu abadde alabiseeko eri Obuganda okwetaba ku mikolo gy’okukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 28 mu lubiri e Nkoni mu Buddu.
Beene yebazizza omutonzi olw’obulamu bwamuwadde okusobola okutuukirizza obuvunaanyizibwa eri abantu be.
Omutanda era asiimye abayimirizzawo obwakabaka mu mbeera eno nga ebyanviddemu ensimbi okuvugirira emirimu gy’obwakabaka bikyaganye okubuddizibwa.
Nnyinimu mungeri y’emu akubirizza abazadde okugunjula obulungi abaana era bakomye okusosola abaana wabula babasomese basobole okuvuganya mu nsi.
Omutanda asiimye omulimu ogukoleddwa abavubuka mu kulwanirira n’okuyimirizaawo Obwakabaka mu mbeera yonna.
Maaso moogi alagidde gavumenti okwongera ssente mu bannassaayansi bakuno abali ku ddimu ly’okuvumbula eddagala lya COVID- 19. Asiimye Yunivaasite y’e Makerere, Gulu ne Mbarara okukola nnyo mu kunoonyereza ku ngeri y’okulwanyisa Covid-19.
Omutanda akaatirizza obukulu bw’obukulembeze obussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu kwossa amazima n’obwenkanya.
Beene asiimye abo abayimiridde ne Buganda nga enoonya amazima era nabasaba obutakoowa paka nga olutalo baluggusizza.
Kisikirize kya Katonda avumiridde abo bonna abateekawo embeera mu bugenderevu okujja Buganda ku mulamwa ogw’okubanja ebyaayo. Agamba nti tebagenda kupowa okutuusa nga Gavumenti ekomezaawo ebya Buganda byonna.
Nyininsi Buganda asiimye abavubuka abakalondebwa mu bifo eby’enjawulo mu Buganda, olw’omutindo ogw’ekika ekya waggulu gwebolesezza mu buwereeza babwe.
Ssaabasajja Kabaka asiimye Bannabuddu n’ababaka ba Palamenti abava mu Buganda olw’okusimba amannyo ku nsonga za Buganda, “tuvumirira nnyo banaffe abo abateekawo embeera mu bugenderevu okutujja ku mulamwa ogw’okujjukiza abakulembeze be ggwanga. Buganda teyagalangako kwekutula ku Uganda yadde okugoba bannayuganda abalala”.
Ku mukolo, emizinga gy’eng’oma 28 gikubiddwa nga akabonero akalaga ekkula Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda lyebatuuseeko wakati mu kutumbula enkulaakulana awamu n’embeera z’abantu be.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agamba nti ensonga y’ettaka lya Mayiro kukyali kusoomozebwa kunene mu Buganda kuba y’emu ku nsonga lwaki okusengula abantu kweyongedde, ekiremesa abantu okwekulakulanya.
Wabula Kabaka akangudde ku ddoboozi ku nsonga z’ettaka mu ngeri y’okwanukula Pulezidenti Museveni era asambaze ebyogerwa nti Mayiro bw’ebuzibu bw’ettaka mu ggwanga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506