Abasajja basatu (3)  balwanidde omukyala, ekivuddeko omusajja omu okuttibwa, ng’afumitiddwa ekiso mu lubuto era afuuye omusaayi okutuusa lw’afudde.

Approx Akampurira ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze ku kyalo Kitumba mu disitulikiti y’e Kabale yattiddwa.

Okusinzira ku batuuze, ku ssaawa nga 3 ez’ekiro ekikeseza olwaleero ku Mmande, Akampurira afunye omukyala omu ku basamba ogw’ensimbi (malaaya) namutwala mu bbaala eya New California T & J bar Oasis Pub okulya obulamu.

New California T & J bar Oasis Pub

Oluvanyuma lw’essaawa nga 2 ng’amugulidde eby’okulya ssaako n’eby’okunywa, Akampurira akutte omukyala ku mukono okumutwala mu loogi kyokka abadde yakasituka, abasajja babiri (2) ne bayingirawo okutwala omukyala y’omu nga bagamba nti mu bonna abasamba ogw’ensimbi, yasiinga okutegeera ensonga z’omu kisenge ate ng’alabika bulungi.

Embeera eyo, evuddeko okusika omuguwa era malaaya abadde asobeddwa kyokka amangu ddala abasajja okubadde Babu ne Jasper bafumise Akampurira ekyambe mu lubuto olw’okubalemesa okutwala omukyala.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agamba nti abatemu baliira ku nsiko mu kiseera kino ku misango gy’okutta omuntu nga n’omulambo gwa Akampurira gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kabale okwekebejjebwa.

Ate Ssentebe w’ekyalo agobeddwa mu offiisi oluvanyuma lw’okubba embizzi y’omu ku batuuze.

Katemba ono, abadde ku kyalo Makhonje Khanje mu ggoombolola y’e Bumasikye mu disitulikiti y’e Mbale enkya ya leero ku Mmande.

Ssentebe Robert Masaba yabba embizzi y’omutuuze Francis Welishe eyali ssentebe w’ekyalo, omwezi oguwedde Ogwomusanvu, 2021 era ebadde enoonyezebwa.

Abatuuze, balemeddeko ne basaba abakulembeze okubakkiriza, ssentebe Masaba okumukuba kibooko 5 wabula abakulembeze ekyo, bakigaanye.

Abatuuze bakaanyiza ne bagoba ssentebe mu offiisi okusinga okulemberamu okubba nga tewali amugambako.

Abamu ku batuuze bagamba nti ssentebe, abadde akulembeddemu okugaanza bakabasajja ng’abasuubiza okubasindikira enva ez’okulya omuli ennyama.

Wabula omu ku bakadde b’omu kyalo, Paf Mwambu atabukidde abadde ssentebe Masaba okwenyigira mu kubba ate ng’atutte mbizzi.

Amusabye okudda eri Omutonzi kuba omuntu yenna singa yenyigira mu kubba naddala embizzi, aba yetaaga Mutonzi yekka.

Oluvanyuma abatuuze basobodde okulonda ssentebe omuggya Paul Wepondi era asabiddwa okuwerezza abantu okusinga naye okwenyigira mu kubba.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506