Abasawo bekinnansi bakwattiddwa okuli n’abaana abato ku misango gy’okutta omusajja n’okutunda omutima gwe N15,000.00 ssaako n’ebintu ebirala.

Poliisi mu ssaza lye Osun mu ggwanga erya Nigeria ebakutte oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Bw’abadde alaga bannamawulire abakwate, Kaminsona wa Poliisi Olawale Olokode, agamba nti nga 24, May, 2021, Poliisi yafuna okwemulugunya okuva eri maama nti mutabani we Fasesan Ayoade Moses myaka 35 yali aabuziddwawo.

Olokode agamba nti oluvanyuma lwa Poliisi okufuna amawulire, dipatimenti ya Poliisi erwanyisa eky’okuwamba abantu, yatandikirawo okunoonyereza.

Agamba nti oluvanyuma Poliisi yakwata Faseun Afolabi okuyambako mu kunoonyereza kwabwe.

Ku Poliisi, wadde Afolabi mu kusooka yali yegaana emisango, oluvanyuma yakkirizza okwekobaana n’abantu babiri (2) omuli muganda we Fadare Afolabi n’omulala ategerekeseeko erya Taiwo, okuwamba n’okutta Fasesan Ayoade.

Ku Poliisi era bagamba nti oluvanyuma lw’okutta Fasesan Ayoade, yagiddwamu omutima era omugagga Adeleke Kabiru yabawadde ssente N15,000.00.

Ebitundu ebirala omuli amagulu, omutwe n’ekiwato byaguliddwa abantu 4 omuli Adeleke Kabiru, Oloyede Maruf, Oseni Mukaila ne Badmus Sairu era bonna baakwattiddwa.

Mu kiseera kino Taiwo nga naye anoonyezebwa era ku misango gye gimu, aliira ku nsiko.

Abakwate bakulembeddemu Poliisi okubatwala mu bitundu bye Fidibomi, Ikirun mu kifo Fasesan Ayoade gye bamuttira, okumugyamu ebitundu by’omubiri ssaako n’okuziika ebisigalidde.

Poliisi esobodde okuziikula ebisigalira bya Fasesan Ayoade ate maama asobodde okuzuula olugoye mutabani we lwe yali ayambadde ku lunnaku lwe bamutta.

Olokode agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu nnyo kuba Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza era abakwate, bakutwalibwa mu kkooti mu bwangu ddala.

Wabula abamu ku batuuze bagamba nti bali mu kutya nti abakwate baludde nga batta abantu ne batunda ebitundu by’abantu omuli emitima, ensigo n’ebitundu ebirala.

Abalala bagamba nti abakwate bayinza okuba batunda ennyama y’abantu mu hoteero ez’enjawulo, kwe kusaba Poliisi okwongera amaanyi mu kunoonyereza.

Ate maama w’omugenzi asabye Poliisi okunoonya abantu bonna abaali mu kikolwa ky’okutta mutabani we Fasesan Ayoade kuba naye yetaaga obwenkanya. Mu Nigeria, ebikolwa eby’okutta abantu byeyongedde nga kivudde ku bikolwa by’okweraguza okweyongera.