Omusajja myaka 24 asse muganzi we ali mu gy’obukulu 30 mu bitundu bye Obuasi, Ashanti mu ggwanga erya Ghana.

Omusajja kigambibwa yakutte essimu y’omukyala bwe yabadde agenze okunaaba, kyokka yagenze okugyekebejja nga mulimu vidiyo nga mukyala we, ali kusinda mukwano n’omusajja omulala.

Mu vidiyo, omukyala yasobodde okwolesa sikiiru ez’omu kisenge nga yasobodde okutegeeza muganzi we nti asukkulumye ku basajja bonna, abaludde nga batagala nga bali mu nsonga z’akaboozi.

Vidiyo, yayongedde okutabula omusajja olwa mukyala we, okususuuta omusiguze era bwatyo yamulumbye bwe yabadde akyali mu kiyigo.

Okulwanagana kwatandikiddewo, omukyala nga bw’asaba omusajja okumuddiza essimu ye, kyokka omusajja yakubye omukyala, okutuusa lwe yafudde.

Oluvanyuma lw’okutta omukyala, omusajja yapangisizza emmotoka okutwala omulambo mu ggwanika oba okusuulibwa ku nsiko mu ngeri y’okubuzabuza obujjulizi.

Wabula ow’emmotoka, yaddukidde ku Poliisi era amangu ddala omusajja akwattiddwa.

Omusajja ono, ku myaka 24 aguddwako emisango gy’okutta omuntu era essaawa yonna wakutwalibwa mu kkooti.

Mu ggwanga erya Ghana, ebikolwa by’abantu okutwalira amateeka mu ngalo naddala mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, byeyongedde.