Dr. Hamzah Ssebunya ayongedde okulaga mukyala we Rema Namakula omukwano wakati mu kunoonya omwana asooka.

Rema oluvanyuma lw’okwanjula bba mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka, tannaba kuzaalira bba Dr. Hamzah omwana yenna era mu kiseera kino.
Rema alina omwana gwe yazaala mu muyimbi munne Eddy Kenzo era Dr. Hazmah amutwala nga mwana we.

Wabula kigambibwa Rema yafunye olubuto, ekyongedde essanyu wakati we ne bba era y’emu ku nsonga lwaki bazzeeyo mu nsiko okuzannya obuzannyo kuba buyambako mu kutangira ebirowoozo.

Rema ne famire yonna, bazzeeyo mu kifo ekimu ekisanyukirwamu okulya ku ssente ne bba era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okugamba nti, “Time to play” kyokka olw’okuba mu kibira ate nga waliwo ensiri, baalemeseddwa okulya obulungi obulamu.

Laba famire mu ssanyu
Nga bategeka okuyingira ensiko