Omukozi w’awaka abadde akola ebikolobero ku mwana wa mukama we, akubiddwa era kabuze kata okumutta ku kyalo Dorowa mu disitulikiti y’e Sokoto mu ggwanga erya Nigeria.

Omukozi, ali mu gy’obukulu 25 atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi olwa mukama we, okumusambasamba ssaako n’okumukuba emiggo.

Entabwe evudde ku mukama we, okwekebejja vidiyo za kamera eziri mu nnyumba, okulaba ebigenda maaso makaage mu kiseera nga taliwo.

Wabula mu kwekebejja vidiyo, omukozi abadde atwala omwana mu kisenge buli misana, okumukozesa ku myaka 4 gyokka.

Mungeri y’emu, omwana abadde amulagira okumukomba ebitundu by’ekyama nga n’okunaaba, bakikola bombi.

Mu vidiyo, ziraga nti omukozi abadde asukkiridde okweyambisa amazzi, gaasobodde okunaaza ebitundu by’ekyama, okufumbira abaana ccaayi ssaako n’emmere omuli akawunga eya bakama be.

Embeera eyo, yeviiriddeko omusajja okutabuka, okutimpula omukozi emiggo era baneyiba webatuukidde, ng’ali mu mbeera mbi.

Maama w’abaana azirise nga naye atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi ng’abaana batwaliddwa mu ddwaaliro, okubekebejja.

Mu kiseera kino Poliisi eri mu kunoonya ssemaka okugibweko sitetimenti ku misango gy’okutimpula omukozi.