Abamu ku baana ab’obuwala abali ku ddimu ly’okulenga akaboozi, bawanjagidde Gavumenti okubalowozaako mu ngeri y’okubanoonyeza emirimu nga bagamba bakooye okwetunda.
Tiffany Namirembe myaka 21 nga mutuuzi w’akaboozi mu Kisenyi agamba nti yafuna olubuto mu kiseera ng’akyali mu ssomero, ekyavaako abazadde okumugoba awaka.
Namirembe agamba nti abadde apangisa akazigo ssente shs 5000 buli kiro wabula wakati mu kulwanyisa Covid-19, ng’ebbaala zigaddwawo, Loogi ssaako n’ekiraabu, abasajja abaali bayayaana nga betaaga omukwano, bakendeera.
Agamba wakati mu kunoonya ssente okwebezaawo n’okutambuza obulamu, abasajja beyongera okusala ebbeeyi y’omukwano okuva ssente shs 5000 okudda ku shs 1000, 2000 ne 3000 ate nga Bakasitoma bakunoonya.
Namirembe agamba mu kazigo, bamugoba dda nga mu kiseera kino, omusajja yenna ayinza okukiriza okumusuza, okwegata afuna kwa bwereere kuba y’engeri yokka, okunoonya eky’okulya n’okufuna wayinza okusula, olw’emirimu okubula.
Agamba singa afuna omulimu, alina essuubi okukyusa obulamu n’okusingira ddala singa bamutwala ku kyeyo kuba mu Uganda embeera sinungi ate nnyina mulwadde wa siriimu era ali mu mbeera mbi.
Ate omuwala omulala ategerekeseeko erya Shamim agamba nti yali awereza mmere mu Resitolanti mu Kampala.
Agamba olwa Covid-19 ng’emirimu giweddewo, yayingira emirimu gy’okwetunda kuba y’engeri yokka eyaliwo, ey’okunoonya ensimbi okutambuza obulamu n’okufuna eky’okulya mu Kampala.
Shamim agamba nti wakati mu kunoonya abasajja nga tebalabikako, yatandika okunywa ebiragalaragala ebyamutabula obwongo era kati ali ku ddagala mu ddwaaliro lya balwadde b’emitwe e Butabika.
Awanjagidde abakulu mu Gavumenti okumulowozaako nga yetaaga omulimu, okusimatuka embeera gy’alimu.
Wabula Macklean Kyomya ssenkulu w’ekibiina ky’obwannakyewa ekya Alliance of Women Advocating for Change (AWAC), agamba nti omuwendo gw’abawala abetunda gweyongedde mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.
Kyomya agamba nti abawala abamu basobezeddwako ate waliwo abafumbiddwa ku myaka emito okuva mu kwetunda ssaako n’okusobezebwako mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’okusingira ddala mu Kampala ne disitulikiti y’e Mukono.
Mungeri y’emu agamba nti Gavumenti erina okweyambisa Covid-19, okutegeera nti erina okuyamba abaana abawala abali mu kwetunda, okufuna kye bayinza okukola.