Abawala abagambibwa okuba bamalaaya, bakwattiddwa ekitongole kya Poliisi nga basangiddwa ku midaala mu ssaawa za Kafyu mu kibuga Gulu.
Abakwate (Bamalaaya) bali wakati w’emyaka 18 – 25 nga baakwattiddwa wakati w’essaawa 3 – 6 ez’ekiro ku luguudo lwa Phillip Tana ne Layibi mu ggoombolola y’e Pece –Laroo.
David Mudong Ongom, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa agambye abawala bakwatiddwa n’abasajja 20 nga bali mu bbaala ate abalala nga bali mu kutambula mu kibuga wakati mu ssaawa za kafyu.
Mudong agamba nti 36 ku bakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Gulu era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti oluvanyuma lw’okusengejjebwa.
Abakwate bali ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19.
Ate RDC we Gulu Denise Odongpiny Odwong agamba nti abantu beyongedde okumenya ebiragiro bya Covid-19, ekintu eky’obulabe, ekiyinza okutambuza obulwadde.
Odongpiny alabudde nti ebikwekweeto bigenda kuddamu ku bantu bonna abalina emputtu ku biragiro bya Covid-19.
Ate Poliisi ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okutta omusuubuzi mu ggoombolola y’e Kyegonza mu disitulikiti y’e Gomba.
Abatuuze ku kyalo Kyegonza – Kisoga mu disitulikiti y’e Gomba bazudde omulambo gwa John Muhanguzi myaka 48 mu nimiro okumpi ne kkanisa ya Pentecostal ku kyalo Kalagala oluvanyuma Poliisi yayitiddwa.
Kigambibwa Muhanguzi nga mutuuze we Kisoga yattiddwa bwe yabadde addayo awaka okuva mu katawuni k’e Nsambwe gye yabadde agenze okugula amafuta akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 27, Ogwomunaana, 2021.
Lydia Tumushabe, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Katonga, agamba nti Poliisi yategeezeddwa enkya ya leero ku by’okutta omuntu waabwe Muhanguzi.

Tumushabe agamba nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Gomba okwekebejjebwa.
Agamba nti Poliisi ekutte abantu babiri (2) okuyambako mu kunoonyereza.
Tumushabe era agamba nti okunoonyereza okusookerwako kulaga nti abatemu bazze kutwala bulamu kuba tewali kintu kyonna kyatwaliddwa eky’omugenzi omuli ne Pikipiki.
Poliisi egamba nti omulambo gwa Muhanguzi gusangiddwako ebiwundu ku lubuto wabula okunoonyereza kutandikiddewo.
Abamu ku batuuze bagamba nti obutakaanya ku ttaka mu kitundu kyabwe, y’emu ku nsonga lwaki abantu battibwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4377692359015039