Kondakita wa bbaasi asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 25 lwa kusobya ku mwana omuto, myezi 15.
Kondakita Seun Aina myaka 41 asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Abiola Soladoye mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria.
Aina asingisiddwa omusango gw’okusobya ku mwana atanetuuka.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Owolabani, Kondakita yasobya ku mwana, nga 3, Janwali, 2018 ku ssaawa 5:30PM ez’akawungeezi ku luguudo lwe Dominion mu kibuga Lagos.
Ku ssaawa ezo, 5:30PM ez’akawungeezi, Kondakita yalabirizza neyiba we nga taliwo, okutwala omwana mu nnyumba okumusobyako.
Maama yageenda okudda ng’omwana ali maziga ssaako n’okuvaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama.
Mu kkooti, abajjulizi abaleeteddwa mwe muli omusawo eyakebera omwana oluvanyuma lw’okusobezebwako, omusirikale eyakulemberamu okunoonyereza.
Wabula bangi ku bannansi bagamba nti Kondakita okusobya ku mwana omuto, myezi 15, abadde agwanira kusibwa mayisa.