Minisita w’ebyensimbi n’okuteekeratekera eggwanga Matia Kasaija awadde abakozi akamwenyumwenyu bw’alangiridde amagoba ku ssente z’abakozi eziri mu NSSF.

Mu lukungana olw’omwenda (9th) olw’omwaka 2021 eri abakozi abatereka mu NSSF, Minisita Kasaija agambye nti omwaka 2020 – 2021, abakozi bonna bagenda kufuna amagoba ga 12.15 ku 100, ekiwadde abakozi amaanyi ku nsimbi zaabwe eziri mu kitavu ky’abakozi.

Mungeri y’emu akubbiriza bannayuganda okujjumbira okutereka ensimbi, zibayambeko mu kwekulakulanya.

Mu lungereza, Minisita Kasaija agambye nti, “In exercise of the powers conferred upon me by section 35(2) of the NSSF Act, I have the pleasure to declare an interest of 12.15% to be paid in interest to members for the Financial Year 2020/2021. I am aware that this growth is not by accident but has been borne out of a deliberate vision and strategic focus. I would therefore like to applaud the Board and Management for a job well done. The Fund will also have the mandate to innovate new benefits for its members. Exponential growth of Asset Size; the Fund will have latitude to collect even more savings from mandatory members in form of voluntary basis

Minisita Kasaija era avuddeyo ku batya okutereka ssente zaabwe ne NSSF nga batya nti essaawa yonna bagenda kufa, nga tebalidde ku nsimbi zaabwe.

Mu kwanukula, Minisita agambye nti singa omuntu yenna afa, nga tafunye ku ssente ze, abaana basobola okuzeyambisa okukyusa obulamu, nga Bannayuganda balina okweggyamu ensigo ey’okutya.

Ate ssekulu w’ekitongole ki NSSF Richard Byarugaba agamba nti wadde Covid-19 akoseza nnyo ebyenfuna by’eggwanga, basobodde okweyambisa enkola z’ekikugu, emirimu okusigala nga gitambula bulungi.

Byarugaba era agumizza abakozi ku ssente zaabwe nga basobodde okuzisiga mu Uganda ne mu nsi endala mu East Africa mu bintu ebyenjawulo omuli n’okuzimba amayumba ag’okutunda, ekyongedde okuyingiza amagoba.

Omwaka oguwedde ogwa 2019 – 2020, NSSF yawa abakozi amagoba ga bitundu 10.75 ku 100.

Mungeri y’emu ssente z’abakozi zeyongedde okulinya, okuva ku butabalika (trillion) 13.28 nga zeyongeddeko ebitundu 17.1 ku 100 ne ziwera omugate gwa Butabalika  (trillion) 15.56.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610