Bulooga Ashiraf Ndagimana Gatto amanyikiddwa nga Ashburg Kato akwattiddwa ku misango gy’okwagala okubba emikutu migatta bantu egya nannyini kutandikawo omukutu gwa Investigator, Stanley Ndawula.
Okusinzira ku mukutu ogwa Chimpreports, Ashburg Kato mu kiseera kino ali kutebe kya Poliisi ku Jinja Road mu Kampala.
Ndawula naye avuddeyo nagamba nti, “Meet Katto Ashburg, one of the top Cordinators of my hacking.”.
Ashburg, yali munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) kyokka oluvanyuma yasala eddiiro neyegatta ku kibiina ki National Resistance Movement (NRM) era ku Poliisi agiddwako sitetimenti ku misango egimuvunaanibwa.
Mu Uganda, Ndawula y’omu ku bannamawulire abakugu mu kunoonyereza ku nsonga ez’enjawulo era abadde akulembeddemu okubikula abantu amaaso ku ngeri omugagga Sudhir Ruparelia gye yaviirako bbanka ya Crane okusanawo.
Kigambibwa Ashburg yatuukiriddwa abakozi ba Sudhir okuyambako ku nsonga za Ndawula era y’emu ku nsonga lwaki yabadde agezaako okuba emikutu gye egya Social Media gyonna.