Omuntu omu attiddwa, Poliisi mu disitulikiti y’e Wakiso bw’ebadde ekwata abantu abasangiddwa nga bali mu bbaala mu ssaawa za Kafyu mu kiro, ekikeeseza olwaleero.
John Kulumba abadde amanyikiddwa nga Kenzo ng’abadde mukubi wa bulooka e Nsangi, kati z’embuyaga ezikunta, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.
Okusinzira ku batuuze, ekikwekweeto kyakulembeddwamu addumira Poliisi y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso Medard Asiimwe ng’ali n’abasirikale abalala, kwe kulumba ebbaala mu bitundu bye Nsangi ku ssaawa 3:30 ez’ekiro.
Omu ku batuuze aberabiddeko nagabwe John Lubwama agamba nti DPC Asiimwe yabadde mukambwe nnyo era bwe yabuuziza lwaki bali mu bbaala mu ssaawa za Kafyu, abamu badduse ate abalala basigaddewo nga balemesa Poliisi okubakwata, ekyavuddeko okusika omuguwa.
Lubwama agamba nti wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, amasasi gakubiddwa.
Nga wayise eddakika ntono, kyazuuliddwa nti Kulumba yabadde yakubiddwa essasi era nga wayise eddakika 30, DPC Asiimwe yakulembeddemu abasirikale okutwala Kulumba mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.
Musa Joseph, omu ku basangiddwa mu bbaala, agamba nti baabadde 10 wabula Poliisi yabadde nkambwe nnyo era agamba nti amasasi gakubiddwa DPC Asiimwe, agasse mukwano gwabwe.
Bagamba enkya ya leero, bakedde mu ddwaaliro ekkulu e Mulago era bategeezeddwa nti Kulumba yafiiridde mu kkubo ng’abasirikale bamutwala mu ddwaaliro.
Wabula okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, DPC Asiimwe yalabudde abaasangiddwa mu bbaala okudda awaka ne bagaana era amangu ddala ne batandiika okulwanagana, ekyavuddeko omu ku basirikale okufulumya essasi, okutebenkeza embeera.
Ekyembi essasi lyakutte omu ku batuuze Kalumba wabula Poliisi egamba nti okunoonyereza ku kyavuddeko embeera kutandikiddewo.
Luke agamba nti DPC Asiimwe akwattiddwa okuyambako mu kunoonyereza, agiddwako sitetimenti ssaako n’abatuuze okuzuula ekituufu ekyavuddeko embeera okusajjuka.
Ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, Luke agamba nti ekisosonkole ky’essasi kyatwaliddwa abatuuze mu kiro kyokka abasabye okukikomyawo, okuyambako mu kunoonyereza.
Kinnajjukirwa nti mu kwogera kw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okusembyeyo, ku nsonga z’okulwanyisa Covid-19, Kafyu yasigalawo okuva ku ssaawa 7 ey’ekiro okutuusa 11:30 ez’okumakya nga n’ebbaala zikyali nzigale.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610