Omusajja ateeberezebwa okubeera omutujju, attiddwa e Kyabando mu Divizoni y’e Kawempe mu Kampala, akawungeezi ka leero ku Mmande nga 4, October, 2021, ekirese abatuuze mu kitundu ekyo, nga banyogoze ssaako n’okuyingira amayumba gaabwe nga bukyali.
Okusinzira ku Poliisi, attiddwa ye Hamid Nsubuga nga y’omu ku batujju, abaludde nga banoonyezebwa era akubiddwa amasasi, ebitongole by’okwerinda ebirwanyisa abatujju.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago ku ssaawa nga 12:30 ez’akawungeezi era Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti Nsubuga, asangiddwa n’emmundu ekika kya Pisito ng’ali mu ntekateeka z’okutta omu ku bakungu mu Gavumenti.
Enanga era agamba nti Omutujju Nsubuga okugyeema okuwanika emikono okugibwako emmundu y’emu ku nsonga lwaki wabaddewo okuwanyisiganya amasasi, ekivuddeko Nsubuga okufuna ebiwundu ebimuviiriddeko okufa.
Poliisi egamba nti Nsubuga y’omu ku batujju abaali basindikiddwa, okukola obutujju mu kuziika eyali amyuka addumira Poliisi mu ggwanga Lieutenant General Paul Lokech mu August, 2021 mu disitulikiti y’e Pader.
Kigambibwa Nsubuga yali ne Katumba Abdul nga yeeyita Ben eyakwattibwa mu kusooka mu disitulikiti y’e Pader.
Enanga agamba nti abadde n’emmundu ssaako n’ebintu ebirala, ebiteeberezebwa okukozesebwa mu kukola bbomu.
Ani abadde agenda okuttibwa!
Enanga akakasizza nti waliwo omukungu abadde agenda okuttibwa Nsubuga kyokka agaanye okwatuukiriza amannya ge.
Agamba nti okuzuula emmundu n’amasasi wadde Omutujju Nsubuga attiddwa, ebitongole by’okwerinda ebirwanyisa abatujju, byongedde amaanyi mu kunoonyereza.
Ki ekiddako!
Enanga agumizza bannayuganda okusigala nga bakakamu kuba ebitongole byokwerinda byongedde amaanyi okunoonya abantu bonna abagambibwa okuba abatujju.
Mungeri y’emu Poliisi, etandiise okunoonya omukyala Nabukenya Sarah ku misango gy’okutulugunya omwana wa bba, ekyavuddeko okufa kwe.
Omwana Nakidde Josephine myaka 4 yafudde, era okusinzira kw’alipoota y’abasawo, okufa kwe (Nakidde), kwavudde mu mbeera mbi gy’abadde ayisibwamu omuli n’okumutulugunya.
Wabula Poliisi ekutte taata Ssekiziyivu Patrick, omutuuze ku kyalo Kirinyabigo mu ggombolola y’e Nabweru mu disitulikiti y’ e Wakiso ku misango gy’okuviirako omwana we okufa nga n’okunoonya omukyala Nabukenya kweyongedde.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi mu ggwanga ee Naguru, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti omusajja Ssekiziyivu yafuna omukyala Nabukenya ng’alina omwana kyokka omukyala olw’okuba talina mwana, y’emu ku nsonga lwaki abadde atulugunya omwana wa bba.
Enanga agamba nti Nabukenya yadduse oluvanyuma lw’omwana okufa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=uMYHv1u6gpU
Bya Nalule Aminah