Poliisi y’e Masaka ekutte omusajja ku misango gy’okutta Kitaawe olw’obutakaanya ku ttaka.

Ettemu, libaddewo mu kiro ku kyalo Lwamatengo mu ggoombolola y’e Nakasenyi.

Okusinzira ku batuuze, omutemu Nicholas Mayanja myaka 24, akulungudde emyaka egiwera ng’asaba kitaawe Herman Ssebwato ekitundu ku ttaka kw’ayinza okutambuliza emirimu gye omuli okulima.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Mayanja yavudde mu mbeera olwa kitaawe okumutegeeza okumuwa akadde, okunoonya abayinza okumuyamba okutematema ettaka, okuwa baana bonna.

Olw’obusungu, mu kiro ekikesezza olwa leero ku Lwokubiri nga 5, October, 2021, Mayanja akutte ejjambiya era atemyetemye kitaawe Ssebwato emirundi egiwera ku mutwe, obulago, ekifuba, emikono, amagulu era afuuye omusaayi okutuusa lw’afudde.

Baneyiba baduukiridde okutaasa olw’omulanga, wabula amaaso gatuukidde ku mulambo wakati mu kitaba ky’omusaayi.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Lwamatengo, John Kakooza, Mayanja oluvanyuma lw’okutta kitaawe, abadde agezaako okudduka wabula abatuuze bamuzingiza okwagala okumutta ku katawuni k’e Mbiriizi mu disitulikiti y’e Lwengo, okutuusa lw’addukidde ku Poliisi y’e Mbiriizi, okutaasa obulamu.

Kigambibwa oluvanyuma lwa Mayanja okutta kitaawe Ssebwato, awuuse omusaayi, ekyongedde okutabula abatuuze.

Ssentebe Kakooza agamba nti Mayanja, kitaawe Ssebwato yamusaanze akyali mu dduuka okumutta.

Eddoboozi lya Kakooza

Wabula Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka agamba nti Mayanja akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu era okunoonyereza kutandikiddewo.

Ate nga busasaana enkya ya leero ku Lwokubiri, ku mwenda e Kitigoma mu disitulikiti y’e Buikwe ku luguuddo oluva e Jinja okudda e Kampala, emmotoka ekika kya Fuso ebadde yettise ebikajjo namba UAU 380M egaanye okusiba, nesabala emmotoka musanvu (7) era wadde bangi basimatuse okufa, waliwo abaddusiddwa mu ddwaaliro nga banyiga biwundu.

Abamu ku basimattuse akabenje, bagamba nti waliwo omukyala asoose okutomerwa, wabula Poliisi bweyimiriza emmotoka okugyawo omulambo, emmotoka y’ebikajjo, bw’etuuse egaanye okusiba, nebasala emmotoka ezibaddewo.

Emmotoka ezitomeddwa kuliko takisi 4 (UBH 147F, UBH 153U, UBB 591M, ne UBH 831Z), Jeep UBG 191D, Double cabin UBJ 935U saako Tuleera ZF437O, nga zonna zibadde ziva Jinja ng’azidda Kamapla.

Omwogezi wa Poliisi mu Ssezibwa Hellen Butoto, agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ekituufu ekivuddeko akabenje nga n’omulambo gw’omukyala gutwaliddwa mu ddwaaliro okuzuula ekituufu ekivuddeko okufa kwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/288582056190409