Ekiyongobero kibuutikidde abatuuze b’e Lwankoni A mu ggoombolola y’e Lwankoni mu disitulikiti y’e Rakai, enju bw’ekutte omuliro, omuntu omu n’afiiramu ate abaana basatu (3) baddusiddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.

Kenny Lugaaju myaka 28 kati z’embuyaga ezikunta.

Okusinzira ku ssemaka Evalisto Mulumba, ekivuddeko omuliro tekimanyiddwa.

Ssemaka Mulumba agamba nti mu kiro nga bebase, yawulidde abaana nga balaajjana era okuvaayo okulaba ogubadde, ng’enju yonna ekutte omuliro.

Agamba baakubye enduulu, eyasombodde Baneyiba okutaasa embeera era baasobodde okutaasa abaana basatu (3) wabula Lugaaju yabadde amaze okufa nga yenna afuuse bisiriiza.

Wabula 100.2 Galaxy FM bw’ebadde ewayamu ne ssentebe wa LC III mu ggoombolola y’e Lwankoni, George William Ssemanda, agamba nti omuliro guyinza okuba gwavudde ku masanyalaze, kwe kulabula abatuuze okwewala ensobi y’emu, eyinza okuvaako omuliro.

Ate addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kyotera Hassan Hiwumbire, agamba nti abaana batwaliddwa mu ddwaaliro e Kalisizo ne Masaka okufuna obujanjabi.

Agamba nti okunoonyereza ekivuddeko omuliro, kutandikiddewo.

Ate Poliisi y’e Masaka ekutte omusajja ku misango gy’okutta Kitaawe olw’obutakaanya ku ttaka.

Ettemu, libaddewo mu kiro ku kyalo Lwamatengo mu ggoombolola y’e Nakasenyi.

Okusinzira ku batuuze, omutemu Nicholas Mayanja myaka 24, akulungudde emyaka egiwera ng’asaba kitaawe Herman Ssebwato ekitundu ku ttaka kw’ayinza okutambuliza emirimu gye omuli okulima.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Mayanja yavudde mu mbeera olwa kitaawe okumutegeeza okumuwa akadde, okunoonya abayinza okumuyamba okutematema ettaka, okuwa baana bonna.

Olw’obusungu, mu kiro ekikesezza olwa leero ku Lwokubiri nga 5, October, 2021, Mayanja akutte ejjambiya era atemyetemye kitaawe Ssebwato emirundi egiwera ku mutwe, obulago, ekifuba, emikono, amagulu era afuuye omusaayi okutuusa lw’afudde.

Baneyiba baduukiridde okutaasa olw’omulanga, wabula amaaso gatuukidde ku mulambo wakati mu kitaba ky’omusaayi.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Lwamatengo, John Kakooza, Mayanja oluvanyuma lw’okutta kitaawe, abadde agezaako okudduka wabula abatuuze bamuzingiza okwagala okumutta ku katawuni k’e Mbiriizi mu disitulikiti y’e Lwengo, okutuusa lw’addukidde ku Poliisi y’e Mbiriizi, okutaasa obulamu.

Kigambibwa oluvanyuma lwa Mayanja okutta kitaawe Ssebwato, awuuse omusaayi, ekyongedde okutabula abatuuze.

Ssentebe Kakooza agamba nti Mayanja, kitaawe Ssebwato yamusaanze akyali mu dduuka okumutta.

Wabula Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka agamba nti Mayanja akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu era okunoonyereza kutandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/288582056190409