Abapangisa bavudde mu mbeera ne batabukira omuwala n’omuvubuka ku kye bayise okubamalako emirembe n’okwonoona abaana baabwe.
Ku ssaawa ng’emu ey’ekiro (7:00PM) kya leero ku Lwokubiri nga 5, October, 2021, omuvubuka ategerekeseeko erya Saada ali mu gy’obukulu 27 akomyewo awaka ng’ali ne muganzi we, ali mu gy’obukulu 24.
Olukomyewo, batuukidde mu nnyumba era wayise eddakika 5 zokka, omuwala afulumye okugenda okunaaba.
Oluyingidde mu nnyumba, mu ddakika nga 10, abapangisa batandiise okuwulira ekitanda ekikaaba mu kazigo ka Saada, ng’akabonero akalaga nti bali mu kaboozi ng’abantu abakulu.
Wabula ekitabudde abapangisa, ye muwala okutandiika okuwogana wakati mu kusinda omukwano ng’eno bw’awoza ‘Oh daddy’.
Omu ku bapangisa ategerekeseeko erya maama Nakate avudde mu mbeera olw’omuwala okuwogana ng’ali mu kaboozi, ekigenda okuboononera abaana n’okubamalako emirembe.
Maama Nakate ayise banne nga bakooye embeera era omuwala abadde yeyongedde okuwogana okulaga muganzi we Saada nti kafulu nnyo mu nsonga z’omu kisenge, abapangisa ne bakoona oluggi nga bawoganira waggulu, ‘tukooye, tukooye, tukooye, tukooye, tukooye, lwaki mutumalako emirembe, naffe tulina abasajja, ffe tulina abaana, gwe ssebo Saada, omuwala mugambe yeddeko”.
Oluvanyuma lw’okukoona oluggi, Saada aguddewo okulaba ogubadde kyokka oluvanyuma agaddewo era omuwala tazzeemu wadde okuvaamu ekigambo.
Embeera eno ebadde ku kyalo Kabuuma mu ggombolola y’e Makindye West mu Kampala era mu kikomera mulimu emizigo 10 nga guli gumu gumu.
Abapangisa bagamba nti buli mwezi, emizigo giri wakati wa ssente shs 80,000 – 100,000.
Ate omusajja ali mu gy’obukulu 30 akubiddwa kibooko 50 lwa kwenyigira mu kubba batuuze.
Martins Dickson nga mutuuze ku kyalo Okobe mu ssaze lye River State mu Nigeria yakubiddwa emiggo.
Dickson asangiddwa lubona ng’abye ettooke lya biwagu bitaano (5) era amangu ddala olukiiko lw’ekyalo, luyitiddwa.
Mu kwewozaako, agambye nti enjala yemusindikiriza okuba wabula ye ssi musajja mubbi.
Wabula abatuuze bakaanyiza okumusonyiwa, era akubiddwa kibooko 50 nga takkirizibwa kukwatayo, okumutangira okuddamu okubba okusinga okumutwala ku Poliisi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/288582056190409