Poliisi mu disitulikiti y’e Wakiso, nga yegatiddwako abatuuze ku kyalo Bujuuko, Ntinda mu ggoombolola y’e Mende, basobodde okutaasa abaana, abaludde nga basibiddwa mu nnyumba, okubatangira okutambula buli kiro Taata alina okusobya ku mwana.
Abaana kuliko omuwala ali mu gy’obukulu 15 ssaako ne muganda we omulenzi.
Omuwala, agamba nti taata (kitaawe) Ibrahim Abdul Shakur Twebaze ali mu gy’obukulu 67, oluvanyuma lw’okumusibira mu nnyumba, abadde yamufuula mukyala we nga buli kiro, abadde ateekeddwa okumukozesa.
Ate omulenzi, asangiddwa mu kesenge akalinga akasitoowa, nga wasula, waliira, weyebaka, wafulumira, ekyongedde okutabula abatuuze ssaako n’abasirikale ng’ekivundu, kisanikidde akayumba.
Mu kugibwako sitetimenti ku Poliisi, omuwala agambye nti kitaawe, yali yamufumbiza omusajja ategerekeseeko erya Sheikh Muhammad mu 2020 kyokka oluvanyuma lw’okudukayo olw’embeera mbi eyamutusibwako, Kitaawe Twebaze yamutwala mu Kiriniki e Mulago okugyamu olubuto era okuva olwo, abadde amusobyako buli kiro.
Ate omulenzi agamba nti kitaawe yamusibira mu kasitoowa nga tamuwadde nsonga yonna era emmere abadde agiyisa mu katuli akali ku luggi, okumuwa eky’okulya.
Wabula Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti taata Twebaze akwattiddwa era atwaliddwa ku Poliisi y’e Wakiso.

Taata Twebaze aguddwako emisango esatu (3) omuli okusobya ku mwana we, okutwala omwana mu ddwaaliro okuggyamu olubuto ssaako n’okutulugunya abaana be.
Owoyesigyire era agamba nti fayiro y’emisango esindikiddwa eri omuwaabi wa Gavumenti okuwabula Poliisi ku misango nga ne Sheikh Muhammad anoonyezebwa mu kiseera kino.
Gavumenti esobeddwa olw’omuwendo gw’abaana abasobezebwako ogweyongedde okulinya okuva mu bantu abalina okubakuuma ssaako n’ okubatekateeka.
Okusinzira ku Minisita w’abaana n’abavubuka Sarah Mateke, alipoota yaabwe eraga nti abaana abasukka 14,000 basobezeddwako wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Alipoota eraga nti abaana 120 basobezeddwako abazadde ssaako n’aboluganda nga n’abasomesa, mulimu abeyongedde okusiwuuka empisa, era abaana abasukka 50, basobezeddwako abasomesa baabwe nga n’abaana abasukka mu 300, babasiiga siriimu oluvanyuma lw’okusobezebwako.
Minisita Mateke ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, awanjagidde bantu bonna omuli abazadde, ebitongole ebikuuma ddembe ssaako n’abakulembeze, okuvaayo okulwanyisa ebikolwa ebyo, okusobola okutaasa abaana b’eggwanga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=EO9CxX77noM&t=57s