Ebitongole ebikuuma ddembe nga bikulembeddwamu Poliisi, Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) binoonya abantu basatu (3), abalina akakwate ku by’okuwamba n’okutta omukyala Susan Magara eyattibwa mu Febwali wa 2018.

Abanoonyezebwa kuliko Yakoob Byansi amanyiddwa nga Ausi, Abdulhakim Lugoloobi ne Musa Abasa omuyizi ku Yunivaasite y’e Makerere ng’asoma bya busawo era kigambibwa nti bakulemberamu okutekateeka okuwamba, okutulugunya n’okutta Magara.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango, abantu bbo baludde nga bekwese era y’emu ku nsonga lwaki olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri (8, Mayi, 2018), bafulumiza ebifaananyi bya Byansi ne Lugoolobi, abatuuze okuyambako Poliisi okuzulibwa.
Susan Magara yawambibwa abantu abatannategeereka nga Febraury 7, 2018 ne babeera naye okumala ennaku 21 okutuusa lwe baasanga ng’attiddwa omulambo ne gusuulibwa e Kitiko ku luguudo lwa Kampala-Entebe Express High way.
Magara yali mubazi wa bitabo ku kkampuni ya kitaawe John Magara eya Bwendero Dairy Farm.
Abatemu baasooka kusaba akawumbi kamu aka ddoola, kyokka ne babawaako emitwalo 20 egya ddoola nga bwe bukadde 700 mu ssente za Uganda kyokka era ne bamutta.
Mu kiseera kino Poliisi erina okunoonyereza okuzuula abantu bonna abali mu kikolwa ekyo bakwatibwe.
Eddoboozi lya Patrick Onyango
