Abatuuze mu bitundu bye Kawempe ne Maganjo, bawanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe, okwongera amaanyi mu ku nsonga y’ebyokwerinda n’okunoonya abaana bonna ababbi, abeyongedde mu kitundu kyabwe.
Abatuuze bagamba nti balina akabinja ka babbi, akamanyiddwa nga Kasolo ng’abaana bato wakati w’emyaka 13 – 17, abateega abantu mu kkubo ne banyakula amassimu, ensawo z’abakyala, amassaawa, nekereesi ssaako n’ebintu ebirala.
Mungeri y’emu bagamba nti ennaku zino, begumbulidde okusuula emisanvu mu kkubo, okuteega abantu abakeera okutambula n’akawungeezi nga banyuse ku mirimu ne batwala buli kantu omuli n’okubagyamu engato.
Mukiibi Sserugga nga mutuuze we Kawempe B, agamba nti okuva ku ssaawa emu ey’ekiro, abatuuze batambulira mu kutya olw’okutya okusaanga abaana ababbi.
Mungeri y’emu agambye nti bo nga abatuuze bagezaako okulwanyisa ababbi mu kitundu kyabwe wabula Bakasolo, abaana balina amaanyi ate betegefu okutta omuntu yenna abekiika mu kkubo lyabwe.
Ate Suleiman Kateregga nga mutuuze we Maganjo agamba nti abaana bamuteega ku ssaawa ng’emu eyakawungeezi (7:00PM) era bamukuba amayinja ne batwala ebintu bye omuli essimu, ssente zonna, ssaako n’emmere gye yali atwala awaka.
Kateregga agamba nti bamukuba ku mutwe nawunga era mu ddwaaliro, yamalayo ennaku eziwerako, okusobola okudda engulu.
Ate Willian Kabugo nga naye mutuuze we Maganjo, agamba nti amateeka amanafu ku baana abenyigidde mu kumenya amateeka mu ggwanga ssaako n’abatuuze obutafaayo okuwa Poliisi obujjulizi, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku baana abakwatibwa, bayimbulwa ne baddamu okubatigomya.
Wabula ssentebe we Maganjo, Alex Kamya agamba nti bangi ku batuuze, amannyo bagagyemu era batya okutambula ekiro.
Ssentebe agamba nti Gavumenti erina obusoobozi okulwanyisa abaana bano, wabula ekyagaanye okuvaayo okubayamba.
Ate Hussein Ssegujja, nga naye ssentebe w’ekyalo Kawempe B, agamba nti olw’embeera nga batuuze bakoowu, okutwalira amateeka mu ngalo kweyongedde nga kivuddeko abaana abamu okuttibwa.
Ssentebe Ssegujja agamba nti kati ye ssaawa, ebitongole by’okwerinda okuvaayo okutaasa abatuuze, abaana bonna abakyamu bakwattibwe nga tebannatibwa.
Ku nsonga ezo, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire bw’abadde awayamu ne 100.2 Galaxy FM, agambye nti bangi ku baana bakwattiddwa ne batwalibwa mu kifo gye bakuumira abaana Naguru ssaako ne Kampiringisa ku misango egy’enjawulo.
Owoyesigyire awanjagidde abatuuze abalina amawulire ku baana ababbi abali mu kitundu kyabwe, okweyambisa Poliisi eziri mu bitundu byabwe.
Bakasolo tubakooye
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/559396568625923