Omuddusi w’emisinde munnansi wa Kenya,  Agnes Tirop afudde enkya ya leero.

Tirop  myaka 25 nga yeyagikikirira Kenya mu misinde gya mita 5000 ez’abakyala  mu mpaka za Olympics ezaali Tokyo mu Japan, asangiddwa mu nnyumba ye e sangibwa ku kyalo Eten Elgeyo Marakwet County nga yafudde.

Kigambibwa nti Tirop yatiddwa butibwa oluvanyuma lw’okusangibwako ebiwundu ku lubuto.

Barnaba Korir, ssentebe w’ekibiina ekitwala abaddusi mu Kenya, agamba nti kiteeberezebwa nti Tirop yattiddwa muganzi we.

Mu mpaka ezaali mu Tokyo, Tirop yamalira mu kyakuna (4th) mu mita 5,000 ez’abakyala mu ddakika 14:39.62. Sifan Hassan okuva e Netherland, yakwata kisooka mu ddakika 14:36.79, Hellen Obiri okuva e Kenya yakwata yamalira mu kyakubiri 14:38.36 ate Gudaf Tsegay okuva e Ethiopia mu kyakusatu 14:38.87.

Mu kiseera kino abaddusi mu ggwanga erya Kenya balidde obuwuka era basabye ekitongole kya Poliisi okunoonyereza ekyavuddeko Tirop okufa.