Poliisi egamba nti omusibe eyetugidde mu kaduukulu, abadde muntu mukyamu nnyo nga yabadde akwattiddwa, ku misango gy’okusobya ku baana be ssaako n’okubasiiga siriimu.

Joram Rwakahinga abadde mu gy’obukulu 40, abadde mutuuze ku kyalo Kikuuta mu ggoombolola y’e Bukango mu disitulikiti y’e Bukomansimbi, eyetugidde mu kaduukulu ak’e Kikuuta, oluvanyuma lw’okukwatibwa, akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri.

Poliisi egamba nti wadde yabadde akwattiddwa ku misango gy’okutisatiisa okutta Nnyina olw’obutakaanya ku ttaka, ng’ali ku Poliisi, abaana be bavuddeyo, nga bamulumiriza okubasobyako.

Abaana okuli owe 12 ne 16 bagamba nti kitaabwe abadde abasobyako era kizuuliddwa nti bonna yabasiinga siriimu kuba naye yabadde mulwadde.

Kigambibwa ensonyi olw’abaana okuvaayo okumulumiriza mu kiseera ng’akwattiddwa era y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okweyambisa ekitundu ku mpale ye, okwetta.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Muhammad Nsubuga, agamba nti abaana batwaliddwa eri abakugu okubabudabuda olwa kitaabwe okubakozesa.

Ate omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka okwongera okwekebejjebwa n’okuwa famire omulambo okuziikibwa.

Eddoboozi lya Nsubuga

Poliisi egamba nti mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, abangi bangi basobezeddwako era bangi bafunye embutto ate abalala bafunye endwadde z’ekikaba.

Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Pader ekutte omukyala ku misango gy’okutta muggya we ku kyalo Nekneno mu muluka gwe Atoo.

Omukwate Winnie Adoch kigambibwa yafumise muggya we Winnie Lawino akambe nga bali mu nimiro ya mawogo.

Okot agamba nti omukwate Adoch mukyala nnamba bbiri (2) era yalumbye Lawino okumusaba okumuguza ku mawogo.

Nga batuuse mu nimiro, Adoch yafumise Lawino, kivuddeko okufa kwe.

John Bosco Lugela, ssentebe wa LCIII mu ggoombolola y’e Bongtiko agamba nti omulambo gusangiddwako ebiwundu ku nsingo, obulago, omutwe.

Adoch oluvanyuma lw’okutta muggya we, yetutte eri ssentebe w’ekyalo era oluvanyuma atwaliddwa ku Poliisi y’e Pajule.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa David Mudong Ongom, agamba nti alipoota y’abasawo eraga nti omugenzi yafudde nga kivudde ku musaayi omungi ogwamuvuddemu.

Ongom era agamba nti omugenzi yafumitiddwa emirundi 4 ku nsingo era okunoonyereza kutandiise.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=AfVy5WDEupQ