Ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku misango mu ggwanga ki Criminal Investigations Directorate-CID kikutte omuvubuka myaka 17 nga muyizi mu S2 ku misango gy’okulanga omuddumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochola nti afudde ku mukutu ogwa Face Book.

Omwezi oguwedde, amawulire gaali gatambula ku mikutu migatta bantu nti IGP John Martins Okoth Ochola mulwadde nnyo era mbu yali awereddwa ekitanda ng’ali mu mbeera mbi wabula Poliisi yavaayo enfunda ezenjawulo okuwakanya amawulire agaali gatambuzibwa.

Mu September, 2021, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga yafulumya amawulire okuwakanya ebigambo ebyali ku mikutu migatta bantu nti Ochola yali mulwadde nnyo.

Charles Twine, omwogezi wa CID agamba nti nga 22, September, 2021, ku mukutu ogwa Face Book mu mannya ga Brison Olywl Oz, yalangirira nti ochola yali afudde era mbu awumule mirembe.

Twine agamba nti Poliisi ng’eri wamu n’ekitongole ekirung’amya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission (UCC) bakola okunoonyereza era face Book yali yaggulwawo mu mannya ga Fatumah Nakazibwe era Poliisi yamunoonya ne bamukwata.

Nakazibwe yategeeza nti talina Face Book era kwe kutegeeza nti eyinza okuba ya mutabani we Mubarak Mubiru.

Ku myaka 17, Poliisi yakwata Mubiru okuyambako Poliisi mu kunoonyereza era wadde mu kusooka yali yegaanye, oluvanyuma yakkiriza omusango.

Mubiru yakwatibwa ne mikwano gye esatu (3) ku misango gy’okutambuza amawulire ag’obulimba.

Twine agamba nti oluvanyuma lw’okutegeeza IGP Ochola ku mwana eyali akwattiddwa (Mubiru), yamusonyiye kuba akyali mwana muto.

Eddoboozi lya Twine

Mungeri y’emu agamba nti bali mu ntekateeka okuwandikira ssaabawaabi wa Gavumenti ebbaluwa mu butongole, abaana okubagyako emisango.

Twine azzeemu okulabula bannayuganda okukomya okwenyigira mu kutambuza amawulire ag’obulimba kuba kimenya amateeka.

Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, efulumizza alipoota ku bantu abakwattiddwa nga benyigidde mu kukusa bannayuganda, okutwalibwa mu nsi z’ebweru.

Mw’alipoota efulumiziddwa, abantu abasukka 500 banunuddwa okuva mu Janwali okutuusa olunnaku olwaleero, kyokka ekyembi abaana abawala bangi basobezebwako.

Agnes Igoye, amyuka akulira ekitongole ekirwanyisa okukusa abantu mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, agamba nti abantu okunoonya emirimu, y’emu ku nsonga lwaki bakukusibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2998106750445930