Omubaka wa Monicipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke asimatuse okuttibwa nga busasaana enkya ya leero, abazibu bwe bakedde okumulumba mu makaage ku kyalo Nakabago cell mu Monicipaali y’e Mukono.

Nambooze wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti abatemu, bayingidde mu kisenge kye nga bali mu ngoye eza bulaaka wabula bba, asobodde okumutaasa.

Nambooze agamba nti wadde omu ku batemu asobodde okutuuka mu kisenge, alina ekirowoozo nti abatemu babadde basatu.

Mu kiseera kino Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonya abazigu abakedde okulumba Nambooze.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala nemirirwano, agambye nti waliwo n’ejjambiya ezizuuliddwa.

Abatemu abatanategerekeka balumbye amaka g’omubaka wa munisipaali y’e Mukono Betty Bakireke Nambooze mu kiro ekikeseza olwa leero ku Lwokubiri nga bazze kumutta.

Omubaka awangalira ku kyalo Nakabago mu munisipaali eno nga kigambibwa nti abatemu batambulidde ku bodaboda gyebalese ebweru okumpi n’awaka.

Wabula abatemu banno omunyayingidde munju neyesoga ekisenge esula omubaka wabula ekyayambye Nambooze ye bbaawe eyabadde mu ddiiro nga asaba bweyawuridde mukazi we nga alekaana kwekujja amuyambe nalawanagana nomu kubatemu banno ekyembi nabesimatulako nabuuka ekikomera nadduka ne munne.

Nambooze ayogedde

Police etegezeeza nti eriko ebintu  byezudde mu makka gomubaka okuli amajambiya 2 amapya nebirala.

Okusinziira ku amyuuka omwogezi wa police mu kampala nemilirwaano Luke owoyesigyire akakasiza beati ensonga eno.

Luke

Vidiyo!

Nambooze