Mu nsi y’omukwano, abantu begumbulidde okweyambisa amassimu gaabwe ne ttiivi awaka okulaba vidiyo z’obuseegu n’ebifaananyi wabula abasawo bagamba nti wadde abantu banyumirwa okubirala n’okubitambuliza mu ssimu zaabwe, birina obuzibu bungi nnyo era biviiriddeko abantu bangi nnyo okulwala endwadde ez’enjawulo n’abamu okulemwa okufuna ku ssanyu ly’omu kisenge olw’obutamanya.

Okusinzira ku Dr. Angella Katumbi okuva ku Pearl Media Centre,  wadde abantu begumbulidde okulaba vidiyo n’ebifaananyi by’obuseegu, bangi tebamanyi nti birina engeri gye bikosaamu obulamu bwabwe.

Vidiyo z’obuseegu zituma omuntu aziraba okwenyigira mu kwematiza: Omuntu ky’akola bw’abeera ku kavidiyo kano kyangu okwenyigira mu kikolwa ky’okwematiza ekireetawo okukendeera kw’amaanyi g’ekisajja n’ennyonta y’omukwano okukendeera.

Okulaba obuseegu

Dr. Katumbi agamba nti waliwo okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko ne kuzuula nti, abasajja abali wakati w’emyaka 20- 40, bangi abafuna ekizibu ky’obutabeera na maanyi mu kisenge, ekimu ku byasongebwako okuba nga kye kireese embeera eno okweyongera kwe kwemanyiiza okulaba ebifaananyi n’obutambi bw’ekikulu, wadde nga waliwo n’ensonga endala ezibuza amaanyi g’ekisajja mu basajja mu nsi yonna.

Dr. Katumbi era agamba nti vidiyo z’obuseegu n’ebifaananyi, biviiriddeko okubuza obwagazi eri abasajja n’abakazi. Omusajja yeesanga nga bw’abeera ne mukyala we mu kikolwa tawangaalira mu kisaawe kubanga obwongo bwe buba bwamanyiira kwemazisa ate n’omukyala ayinza okulemwa okufumbirwa kuba aba yafuna ekimuyamba ng’omusajja mu kisenge.

Kino kibaawo kuba obusimu obuleetera omuntu yenna okwegatta butuuka nga tebukyasituka olw’okubanga amazzi gali gaweddemu ate abamu bakola okwemazisa nga tebalya bulungi, ekintu ekiviirako embeera okusajja ssaako n’amaka mu bantu abali mu bufumbo.

Abavubuka abasinga buli lw’atandika okwenyigira mu bikolwa bino naddala abafumbo, ekiseera kituuka ng’akatambi kamumalira ensonga ze ate bwe gutuuka ku musajja atayagala baana oba kuzaala kisukka kuba ayinza okulwawo okufuna omukyala.

Dr. Katumbi  era agamba nti omuntu ng’alina vidiyo z’obuseegu, ayinza okufuna emize gy’atabadde nagyo. Agamba kyangu nnyo omuntu abadde alaba akatambi okusobya ku baana abawala oba okukwata abakyala, ekintu ekimenya amateeka, kubanga abeera ayagala ekiseera ekyo ky’abadde alaba akikolerewo olw’obwagazi okuva mu katambi.

Munngeri y’emu agamba nti Kansa yeyongedde nga kivudde ku bantu okulaba obutambi bw’obuseegu. Mu basajja/ abavubuka mu kiseera ky’okwematiza, gy’akoma okusika olususu oba ekiriba ky’obusajja afuna okunuubulwa munda ate oluusi amabwa ne gatuuka nga tegakyawona n’afuna ‘Uretheral Cancer’ era mu Uganda yeyongedde mu basajja wakati w’emyaka 30m kwa 40

Okunoonyereza kulaga nti abakyala mu ggwanga beyongedde okweyambisa ebintu omuli bbiring’anya, amenvu okwemazisa wabula Dr. Katumbi agamba nti ekyo kiviiriddeko abakyala abamu okwefumita n’okwekoona ku nnabaana, ekivuddeko abamu okufuna Kkansa wa nnabaana.

Abasawo bagamba nti olwa Tekinologye okweyongera mu nsi yonna, abantu bangi balina amassimu omuli n’abaana abato, ekivuddeko obuseegu okweyongera mu nsi yonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/574543130547993