Minisita w’ebigwa tebiraze n’ababundabunda Eng. Hilary Onek agamba  nti atuuse okusuulawo emirimu gye alekulire nga entabwe eva ku ngeri Ssaabaminisita Rt. Hon Robinah Nabbanja gy’akolamu emirimu.

Min Onek agamba nti Ssaabaminisita Nabbanja asukkiridde okweyingiza mu mirimu gya offiisi ye, okumuyisaamu amaaso ssaako n’abakozi mu offiisi ye, ekintu ekiyinza okusanyalaza ebyentambula y’emirimu.

Agamba nti Nabbanja okugenda mu bifo by’abantu abakoseddwa, mu nkambi za babundabunda, kabonero akalaga nti yatwala emirimu gye, ekintu ekyobuswavu.

Onek aloopye eri bannansi bonna ssaako ne mukama we era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ku mbeera gyayitamu egenda okuvaako okulekulira mu bwangu singa embeera tekyuka.