Ebitongole ebikuuma ddembe ebiri ku ddimu ly’okulwanyisa obutujju mu ggwanga, bisse omusajja agambibwa okuba omutujju.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga omusajja yabadde akwattiddwa era abadde atwalibwa ku kitebe kya SID e Kireka okugibwako sitetimenti.

Wabula nga bali mu kubbo, omusajja abuuse kabangali ya Poliisi okudduka.

Enanga agamba nti abasirikale, bakubye amasasi mu bbanga okumusaba ayimirire wabula alemeddeko okusigala ng’adduka.

Nga batuuse okumpi n’ekifo webakuumira abaana abenyigidde mu kumenya amateeka ekya Naguru Remand Home, abasirikale bakubye omusajja amasasi agamutiddewo.

Enanga agamba nti omusajja attiddwa ye Matovu Adam amanyikiddwa nga Manihajji myaka 36, abadde omutuuze mu zzoni y’e Ttula mu Divizoni y’e Kawempe.

Kinnajjukirwa nti omwezi oguwedde, Hamid Nsubuga, omu ku batujju eyali yasindikibwa okutta abantu mu kuziika eyali amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Lt Gen Paul Lokeck mu disitulikiti y’e Pader mu Gwomunaana, yattibwa, abasirikale abali ku ddimu ly’okulwanyisa obutujju e Kyebando mu Kampala.
Abalala abattibwa kuliko Hussein Lubwama ne banne basatu (3) abakola obulumbaganyi ku minisita w’emirimu Gen Katumba Wamala mu Gwomukaaga ne batta muwala we ssaako ne Ddereeva we.