Abasajja abagambibwa nti baali bateseteese okulumba okutta abantu mu kuziika eyali amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga Lt Gen Paul Lokech mu disitulikiti y’e Pader mu Gwomunaana, basimbiddwa mu kkooti enkya ya leero.
Bano abasatu (3) okuli Rashid Katumba, 21 nga mutuuze we Masajja Kibiri e Makindye, Najjimu Luyenjje, 22, nga mukozi ku Mobile Money e Kijjabwami e Masaka District ne Arafat Kiyemba, 26, nga mutuuze we Mengo Kisenyi, mu Kampala, batuusiddwa ku kkooti ya Buganda Road mu Kampala wakati mu byokwerinda, nga bannamaggye bakutte emmundu okwetangira ebiyinza okuddako.
Basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Doreen Kalungi ku lwa Miriam Okello, abaddeko emirimu gyakola.
Mu kkooti, baguddwako emisango esatu (3) omuli obutujju, okusangibwa n’ebintu ebiteeberezebwa okuba bbomu n’okubeera wansi w’akabinja k’abatujju aka ADF.
Olw’okuba emisango gya naggomola, tebakkiriziddwa kwogera kigambo kyonna era bonna basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 19, omwezi guno Ogwa November, 2021.
Lokech yafa nga 21, Ogwomunaana, 2021 e Kitikifumba, Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ate yaziikibwa nga 27, Ogwomunaana, 2021 mu disitulikiti y’e Pader.