Muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba alidde ebigambo bye, akkirizza okudda ku TV, okusobola okunoonya ssente ng’omwana omuwala.
Sheilah Gashumba bamuwadde omulimu ku NBS TV mu Pulogulamu ya NBSAfter5.

Amawulire ga Sheilah okwegata ku NBS galangiriddwa akawungeezi ka leero, “SheilahGashumba joins the biggest entertainment show in the land. #NBSAfter5 just got revamped, and it doesn’t get any better than this“.

Wadde Sheilah mulungi okukola ku Ttiivi, naye lwaki alidde ebigambo bye?

Omwaka oguwedde ogwa 2020 mu biseera nga Sheilah ali mu laavu ne God’s Plan, yalaga nti yakoowa okukola ku TV olw’okufuna omusaala omutono.
Sheilah agamba nti bwe yali akola ku TV, yali afuna omusaala gwa 50,000 olunnaku era y’emu ku nsonga lwaki yagikoowa.
Okuvaayo, waliwo olutalo wakati wa NTV ne NBS era yategeeza nti musanyufu nnyo okuba mu bufumbo okusinga okulinda shs 50,000 olunnaku oba shs 1,000,000 buli mwezi era Mulungereza, yagamba nti, “Even when I did the fashion show on NTV, I was being paid UGX 100K per show. That meant UGX 400K a month yet I was living a million shilling lifestyle. I was literally faking it all through. My makeup was at UGX 80K. That means I was earning 20K per show. Add in transport, add in every other thing, I was paying to be on TV. Right now, I would rather be a good house wife to God’s Plan than pretend to be a TV Presenter. Fame did not pay my bills, God’s Plan does“.

Mu kiseera kino okudda ku TV, wadde bayinza okumuwa ssente okusukka 1,000,000, kiraga nti alidde ebigambo bye kuba yalaga nti yakoowa omusaala gw’ebinusu.

Lwaki NBS mu kiseera kino!
Kigambibwa essaawa yonna, MC Kats agenda era y’emu ku nsonga lwaki NBS ebadde erina okunoonya omuntu omulala okudda mu bigere bya Kats.
Ebiriwo, biraga nti MC Kats yafunye omulimu mu kitongole ekirwanyisa mukenenya ekya Uganda AIDS Commission.