Ssemaka akubye omulanga bw’azze engulu nga mukyala we, amusaze ebitundu by’ekyama nga kusigaddeko, akaliba katono, omukulu akutukeko.
Tugumisiriza Benon myaka 45 nga musajja musuubuzi era mutuuze ku kyalo Bikurungu mu disitulikiti y’e Rukungiri yasigadde maziga.
Kigambibwa ye n’omukyala Kobusingye Milly myaka 40 baludde nga balina obutakaanya, ng’omukyala alumiriza bba, okuwasa omukyala w’okubiri.
Wabula ekiro ku ssaawa nga 5, omukyala Kobusingye, yakulembeddemu kusendasenda bba okusinda omukwano era amangu ddala ssemaka Tugumisiriza yabadde akooye era yaggudde eri neyebaka.
Ku ssaawa 7 ez’ekiro, omukyala Kobusingye yakutte akambe, kwe kusala bba ebitundu by’ekyama era mu kiseera kino aliira ku nsiko.
Wakati mu maziga ssaako n’obulumi, ssemaka yasobodde okweyambisa emmotoka yawaka, okudduka mu ddwaaliro lye Nyakibale nga yenna atonnya musaayi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, Kobusingye abadde ne bbaawe emyaka egisukka 27 nga balina abaana 4.
Mu ddwaaliro, abasawo bakaanyisa omutaka yenna okumugyako olw’okutaasa obulamu.
Maate awanjagidde abatuuze bonna abalina amawulire ku mukyala Kobusingye okuyamba ku Poliisi, kuba kati aliira ku nsiko.