Omukyala Annet Kiconco eyasimattuka okufiira mu bbomu e Komamboga mu Divizoni y’e Kawempe nga mu kiseera kino ali mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, awanjagidde buli muntu ayinza okumuddukirira.

Kiconco y’omu ku bantu 7 abasimatuka okufa nga 23, omwezi oguwedde ogwekkumi, 2021, olwa bbomu okubwatuka mu kifo kya bali b’embizzi, omwafiira omukyala omu.

Agamba nti ye asiika Chipusi okumpi ne bbaala gye baalumba era mu kiseera ekyo, waliwo Kasitoma gwe yali atwalidde eby’okulya.

Kiconco ng’ali e Mulago mu Ward 6B

Kiconco mukyala muzadde ng’alina abaana babiri (2) era yakosebwa omukono ogwa ddyo, amagulu gombi, ekifuba ssaako n’olubuto era agamba nti yagibwamu emisumaali munaana (8)  ate egimu gyasigalamu.

Bw’abadde awayamu naffe agambye nti abasawo, bazzeemu okumwekebejja era kyazuuliddwa nti waliwo emisumaali ebiri (2) egikyali mu lubuto nga yetaaga obukadde obusukka 5 okulongosebwa.

Kiconco nga mutuuze we Kitetikka mu Tawuni Kanso y’e Kasangati, wakati mu kulukusa amaziga, awanjagidde abantu okumuyamba naye obulumi busukkiridde.

Mungeri y’emu agamba nti mu ddwaaliro yali asiibuddwa wabula yaziddwa mu ddwaaliro ku Ssande nga 7 omwezi guno ogwa November, ng’embeera si nnungi.

Eddoboozi lya Kiconco

Ate muganda wa Kiconco, Ibrahim Mwesigwa omu ku bali mu ddwaaliro, agamba nti mu kusooka, famire yewola ssente obukadde 3 okola ku nsonga z’eddwaaliro wabula ssente zaweddewo ate embeera ekyali mbi.

Mwesigwa awanjagidde Gavumenti n’abuli muntu, ayinza okubaduukirira.

Eddoboozi lya Mwesigwa

Mu kunoonyereza kw’ebitongole ebikuuma ddembe ebirwanyisa obutujju mu ggwanga, kulaga nti bbomu y’e Komamboga yali njigirire era kigambibwa kirimu omukono gw’abatujju b’akabinja ka ADF.

Mu kiseera kino, Poliisi ekyanoonya abatujju abaali mu kikolwa ekyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BsIpbsGis-E