Poliisi mu disitulikiti y’e Sembabule etandiise okunoonyereza ku ngeri omutemu gye yalumbye omwana omuwala myaka 13 namutemako omutwe.

Omuwala Violah Nangoba abadde asomera ku Nakasunsa Little Stars Primary School yattiddwa ekiro ku Lwokutaano bwe yabadde afulumye mu nju ku ssaawa nga 2 ez’ekiro okukima amazzi mu ttanka ku kyalo Nakasunsa mu ggoombolola y’e Katwe mu disitulikiti y’e Sembabule.

Taata Sam Lutakoome agamba nti mu kiseera ekyo, yabadde akyali mu katawuni ate maama nga mukozi ku Mobile Money, yabadde ekyali ku mulimu.

Okusinzira ku batuuze, omwana yatemeddwa ejjambiya ku nsingo era yagudde wansi nafiirawo.

Muhamad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah, okunoonya omutemu kutandikiddewo n’okuzuula ekituufu, ekyavuddeko omwana okuttibwa.

Mungeri y’emu agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu kuba essaawa yonna omutemu, wakuzuulibwa.