Ebitongole ebikuuma ddembe bizzeemu n’ebikwata abatujju 3 abaatolose mu kkomera ku akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande.

Abatujju abazzeemu okukwattibwa kuliko Mohamed Ali Abikar eyakwatibwa ku by’okulumba Garissa University mu 2015 ne batta abantu abasukka 140 n’okusingira ddala abayizi era abadde yasibwa emyaka 41.

Abalala kuliko Musharaf Abdalla eyakwattibwa, bwe yali agezaako okulumba Palamenti y’eggwanga mu 2012 ne Joseph Juma Odhiambo eyakwattibwa mu 2019 ku nsalo ye Kenya ne Somalia bwe yali amaliridde, okwegata ku kabinja kabatujju aka al-Shabab.

Oluvanyuma lw’okutoloka, Gavumenti yalangiridde 550,000 eza Doola ku muntu yenna, ayinza okubatuusa ku batujju.

Wabulam bonna bazzeemu ne bakwatibwa, nga bagezaako okusala okuyingira eggwanga erya Somalia, nga batambudde mayiro 186 okuva mu kibuga Nairobi.

Oluvanyuma lw’okutoloka mu kkomera lye Kamiti mu kibuga Nairobi, omukulembeze w’eggwanga eryo Uhuru Kenyatta, yagobye abadde akulira ekitongole ky’amakkomera Wycliffe Ogalo, abasirikale 7 mu kitongole ky’amakkomera baakwattiddwa.

Wadde bakwattiddwa, Gavumenti ezzeemu okulabula bannansi okwongera okwekuuma, okutangira embeera yonna ey’obutujju.