Abakulu mu Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga abali ku ddiimu ly’okulwanyisa okukusa abantu, nga begatiddwako ekitongole ekya Poliisi, kikutte abantu 33 abasangiddwa nga baliko ennyumba mwe basula mu ngeri ekyatankanibwa.

Abakwate abasangiddwa nga basula mu nnyumba emu mu bitundu bye Naalya mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso, kuliko abalenzi 25 n’abawala 8, wakati w’emyaka 19 kwa 30, ekirese abatuuze nga bebuuza, ekibasuza awamu.

Wabula Agness Igoye amyuka akulira okulwanyisa okukusa abantu mu Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, agamba nti bakitegeddeko nti waliwo Kampuni emu kwezo etwala abakozi mu nsi z’ebweru, ebadde ebakunganyiza okubatwala wabula okunoonyereza, kutandikiddewo.

Igoye ku bakwate

Igoye agamba nti n’okuyingira munda mu nnyumba, Poliisi yabuuse ekikomera ekiro ku Lwomukaaga nga abali munda batya okukwattibwa.

Igoye era agamba nti kampuni enoonyezebwa olw’okuteeka abantu mu nnyumba etamanyiddwa Minisitule y’abakozi mu ggwanga n’okusuza abantu ng’ebisolo, ekintu ekimenya amateeka.

Mu kiseera kino abakwate bali ku Poliisi okugibwako sitetimenti era Igoye agamba nti kino kye kiseera okulwanyisa ekitongole oba omuntu yenna ayinza okwenyigira mu kukusa abantu.

Ate Abaddu ba Allah ab’ekiwayi kye Kibuli balangiridde Sheikh Muhammad Galabuzi nga Supreme Mufti wa Uganda omuggya.

Sheikh Galabuzi alondeddwa okudda mu bigere bya Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa eyalekulira mu Gwokuna 2021.

Okusinzira ku Sheikh Muhammed Lunaanoba Kawooya, akulira bamasheikh, Sheikh Galabuzi agenda kumyukibwa Sheikh Ibrahim Ntanda ne Sheikh Mahad Kakooza.

Sheikh Ndirangwa yali yalondebwa mu 2015 okudda mu bigere bya Sheikh Zubair Kayongo, eyafa mu Gwokuna, 2015.

Bwe yali alekulira, yategeeza nti okusika omuguwa okuli e Kibuli, y’emu ku nsonga lwaki yasuulawo tawulo.

Sheikh Ndirangwa yategeeza nti tasobola kusika muguwa na bamusinga nga ku lw’obulungi bw’Obusiraamu, asazeewo adde ebbali abalala batwale mu maaso emirimu gy’obusiraamu n’asiima baakoze nabo ebbanga eryo.

Sheikh Galabuzi amanyikiddwa ng’omusajja omusomesa ku by’eddiini ng’alabiddwako emirundi mingi ku Ttiivi, okubangula Abasiraamu ku ddiini, musajja ssemaka era kigambibwa alina abakyala basatu (3) n’abaana abatamanyiddwa muwendo.